Omusumba w'Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala, Andrew Jengo yeegasse ku bannaddiini okukungubagira Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga.
Jengo yagambye nti okufa kwa Ssaabasumba kikangabwa kya maanyi eri abakkiriza naddala Abakatoliki n'abagumya era yayogedde ku Ssaabasumba ng'omusajja abadde ow'omuwendo eri eggwanga kyokka ne yeebaza Katonda amusobozesa okuweereza ebbanga lyamaze mu buweereza bw'eddiini.
Okwogera bino yabadde mu kusaba kw'Amazuukira ku kkanisa eno e Kawaala n'asaba abakkiriza okukozesa olunaku lwa luno beekebere era badde eri Omutonzi.
Jengo ayogedde ku bannaddiini abalala abafudde mu kiseera kino nga; Shiek Muzaata Batte n'abalala n'agamba nti okufa ly'ekkubo buli muntu lyakwata naye ekiseera kye kikyukamu naye abasigadde basaanye okuguma.