OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu.
Harriet Achen 37 omusuubuzi wa mukene mu katale k'e Bugembe ekisangibwa e Jinja yakubibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde essasi abapoliisi bwe baali baliko omubbi gwe bagoba.
Ono essasi lyamusanga munda mu bbaasi bwe yali anyuse ng'adda waka era oluvannyuma lw'abaserikale okukuba amasasi, erimu lyawaba ne limusanga ku mutto kwe yali atudde emabega ne limukuba ne liwagamira mu kabina.
Yasooseddwa mu ddwaaliro ly'e Jinja ne bamukolako n'oluvannyuma ne bamwongerayo e Mulago okusobola okumuggyamu essasi eryabadde likyalemedde mu mubiri gwe.
Sumin Obunyi muto wa Achen yategeezezza nti embeera gye baddusirizaamu mu ddwaaliro yabadde mbi n'ategeeza nti abasawo b'e Jinja oluvannyuma lw'okwekenenya embeera ye nga mbi basazeewo okumwongeyo e Mulago okufuna obujjanjabi obumala.
Source