Rev. Fr. Grace Matovu Kyamerakumbuzi asoomoozezza abakungubazi abeetabye mu kuziika abadde Omutaka w'e Kyaggwe, Kavuma Kaggwa okuba abantu abalungi, bwe baliba bavudde ku nsi basobole okuziikibwa mu kitiibwa.
Bino Fr. Matovu yabyogedde akulembeddemu okusabira omwoyo gw'omugenzi Kaggwa bwe yabadde aziikibwa ku kyalo Luga, Kisoga mu disitulikiti y'e Mukono.
Yayogedde ku Kavuma Kaggwa ng'abadde omusajja ow'ensa era awa abantu abalala ekitiibwa. Abadde muntu ayagala okukolera abalala ebirungi noolwekyo yasabye abakungubazi okukolera abalala ebirungi nga nabo bwe babyagala.