Thursday, April 8, 2021

Ssegirinya alaajanidde mu kkooti nga bamuzza mu kkomera

Ssegirinya alaajanidde mu kkooti nga bamuzza mu kkomera

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde Muhammad Ssegirinya eyakazibwako erya Mr.Update bwe yabadde mu kkomera e Kitalya yalaajaanidde kkooti emute asobole okwetegekera okulayira.

Ssegirinya amaze wiiki ssatu mu kkomera e Kitalya ku misango gy'okukuma mu bantu omuliro beekalakaase.

Yabadde asuubira nti agenda kweyimirirwa kyokka balooya be okwabadde Shamim Malende ne Kiryowa ne balemwa okukwatagana n'omulamuzi Gladys Kamasanyu n'amuzzaayo mu kkomera ku limanda okutuusa nga April 15, 2021.

Omubaka Omulonde Ow'e Kakuuto, Geofrey  Lutaaya Ne Mukyalawe Ku Kkooti.

Ssegirinya yalaajanye nga bw'agamba omulamuzi Gladys Kamasanyu nti" Owekitiibwa omulamuzi ndi mubaka omulonde, nnina okwetegekera okulayira okunaatera okubaawo nnyamba onte nja kukomawo mu kkooti lw'oba oneetaaga".

Yagenze mu maaso n'agamba nti; ndi mulwadde aba poliisi bwe baali bankwata bankuba era kati nneetaaga okulaba omusawo. Embeera y'ekkomera sigisobola nnyabo nnyamba onte nja kukomawo mu kkooti.

Ssegirinya yakaanyiza kwogera naye ng'omulamuzi yasazeewo dda nti bamuzzeeyo mu kkomera okutuusa nga April 15, 2021.

Kkooti yali yalagira Ssegirinya akomezebwewo mu kkooti nga April 8, 2021 oludda oluwaabi lutandike okuleeta abajulizi era bamusabire okweyimirira. Kkooti olwatudde looya wa gavumenti Joan Keko n'ategeeza omulamuzi nti mu kkooti mulimu abajulizi basatu abeetegese okulumiriza Ssegirinya.

Walukagga Meeya W'e Kyengera Walukagga Ku Kkooti.

Looya wa Ssegirinya, Malende yasitukiddewo n'agamba nti okuwulira omusango tekusobola kugenda mu maaso kubaga tebeetegese.

Yawadde ensonga nti gavumenti tebawanga sitetimenti za bajulizi baayo, baziyitemu basobole okutegeka engeri gye bagenda okuwolereza Ssegirinya ng' amateeka bwe galagira.

Yabadde azze n'abagenda okumweyimirira omuli meeya we Kyengera omulonde omuyimbi Matthias Walukagga, omubaka Allan  Ssewanyana n'abalala.

Looya wa gavumenti yamuzeemu nti okuva ku lunaku Ssegirinya lwe yasindikibwa ku limanda nga March 22, 2021 babadde babalinda bakime sitetimenti naye beetuddeko.

Yagambye nti Malende bw'aba asaba abajulizi baleme kuwa bujulizi bwabwe, n'ekyokusaba okumweyimirirwa akiveeko akikole ku lunaku olulala kkooti lw'eneeba emuwadde.

Malende ne Kiryowa bazze mu kukubagana ng'omu agamba nti akkiriza bawulire obujulizi bw'oludda oluwaabi oluvannyuma kkooti ewulire okusaba kwabwe okwokweyimirirwa omulala  agamba nti basooke kuwulira kusaba kwa kweyimirirwa ebirala binajja oluvannyuma.

Omulamuzi yasazeewo nti Ssegirinya bamukomyewo nga April 15, 2021 balooya be basobole okwetegeka obulungi kubanga tagenda kugendera ku ntoli zaabwe nga bamukozesa bbo bye baagala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts