Hajj Kiganda yatikiddwa diguli mu Public Administration okuva mu Uganda Islamic University ng'okwebaza Katonda akukoledde mu maka ge agasangibwa mu Munisipaali y'e Ntebe mu Wakiso.
Agambye nti obukugu abadde na bwa Engineering ng'azimba bizimbe nti Bannakalungu ne bamulonda ku Bwassente bwa NRM ate ne Bassentebe bonna mu ggwanga ne bamukwasa ogw'okubakulira nga Ssentebe waabwe.
N'agamba nti kino kyamuwalirizza okwongerako ebitabo akuguke ne mu by'okukulembera abantu era olw'amaliriza diguli esooka n'agattirawo okusoma ey'okubiri afuukire ddala kakensa buli kimu ng'akikuba buddinda.
Omukulo gwetabiddwako abakukunavu bangi abakuliddwa omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ne Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba.