Bya Mukasa Lawrence
ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku muzikiti gwa Masgidih Jamiyah ku Ndikuta Madda ku luguudo lwe Busaabala n'ebintu ebikozesebwa bibayambeko mukusiibulukuka n'okumalako ekisiibo kino obulungi.
Spice Diana yategeezezza nti ayagala nnyo eddiini y'obusiraamu kubanga mu biseera byeyabeererako ne Kitaawe omuto eyali bba wa maama we yamuyisa bulungi n'amutuuma n'erinnya lya Hajarah yesonga lwaki tayinza kutuula butuuzi mu kaseera ng'Abasiraamu bangi bali mu kusiiba kyoka nga eby'okusiibulukuka tebabirina.
Ye Fik Famaicca yategeezezza nti eky'okubeera omuyimbi tekimuggyako kubeera nti munaddiini era yabadde alina okusitukiramu agende ayambe basiraamu banne abali mu kusiiba naye nga tebalina byakusiibulukuka n'asaba n'abantu abalala abalina obusobozi okuyamba kwabo abatalina.