OMUKAZI atabukidde bba abadde talese ssente za kamee za ne balwana okukakkana ng'omukazi amusazeeko obulago.
Ettemu lino libadde Kisaasi Kikulu ekisangibwa mu muluka gwe kikaaya mu munisipaali ye kawempe.
Ettemu libaddewo ku saawa ttaano ez'okumakya ku mmande omukazi Janet Nadagire bwatabuse ne bba Patrick Tumwine gwalinamu omwana omu n'amusala akaso mu bulago n'amuleka ng'ataawa n'amuleka mu nnyumba badduka.
Oluvannyuma Tumwine nga tannafa yewaludde n'akaso akabadde kamulaalidde mu bulago nava mu nnyumba nafuluma wabweru kyokka amaanyi ne gamugwamu n'afa.
Omukazi kigambibwa nti bwamaze okukola ettemu asoose kufuluma nnyumba adduke okwewala abatuuze okumukolako obulabe wabula mu kiseera wafulumidde ng'ali bute ekiwalirizza bakyala banne okwanguyira ne bamulagira okuddayo mu nnyumba asobole okwetekako engoye.
Oluvannyuma abatuuze agaanyi okutwalira amateeka mu ngalo ne basalawo okumutwala ku LC1 ye kikumi etwala ekitundu ne bamuggalira eyo okuziyiza abantu okumukolako effujjo ng'eno poliisi ye kikaaya gye musanze ne mwongerayo ku poliisi e kira Road.
Ndagire yategeezezza nga bwatagenderedde kutta Bba n'ategeeza nga bwebwabadde obusungu.
Poliisi ye kira road yasobodde okuyitibwa ne basooka bekebejja omulambo gwe basanzeeko ekiwundu ekimu ku bulago ne bagukuba ebifananyi n'oluvannyuma negutekebwa ku kabangali ne bagutwala e Mulago okwongera okugwekebejja.Abatuuze bavumiridde ekikolwa ky'omukyala ono ne basaba amateeka gamukoleko.