Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde mu mwala.
Ono nga ye Samadu Kalungi abadde akola gwa kusomba kasasiro ku kitundu nga kiteeberezebwa okuba nga yanywedde omwenge mungi akawungenzi k'eggulo ogwamuviiriddeko okutamiira n'agwa mu mwala n'afa mu kiro.
Abatuuze beemulungunyiza olwa poliisi okulwawo okutuuka mu kitundu okubaggyako omulambo nga ate bwe balaba aba bbooda abattika babanguyira okubakwata.
Amyuka ow'ebyokwerinda mu kitundu kino, Florence Kabasaaba asabye gavumenti ebayambe ebakolere emyala gibikibwe kubanga gyabulabe naddala eri abaana abato.