Bino bibaddewo olwaleero(Lwakusatu ku makya) abasuubuzi abakulembeddwa,ssentebe w'ekibiina kino Godfrey Katongole ne munabyabufuzi Dr. Stella Nyanzi bwe batuuziza olukiiko lwa banamawulire ku wooteri ya Bilaj mwe bategeereza nti bakooye embeera y'okulimbibwa nti gavumenti egenda kuggulawo akeedi zabwe 'okukonkomalira ebweru w'ebizimbe byabwe olw'omuggalo ogwabateekebwako emyezi 3 emabega.
"Tukooye okuwuddiisibwa abakungu ba gavumenti okuli baminisita wa Kampala Betty Amongi n'owebyobusuubuzi Amelia Kyambadde bamaze ekiseera nga batuguumaza nti essaawa yonna bagenda kutuggulirawo akeedi zaffe wamu n'okukola kunsonga y'abananyini bizimbe abaagala okutusasuza ssenet z'ebbanga lye tumaze nga tetukolera mu bizimbe byabwe",bwatyo Katongole bwe yategeezeza wakati mu nakku.
Ono awagiddwa Stella Nyanzi ategeezeza nti asazeewo okwegatta ku basuubuzi okutuusa eddoboozi lyabwe eri pulesidenti Museveni gwe yagambye nti amazze ekiseera ng'asuubiza abantu bano empewo.
Era nawera okulwanirira eddembe ly'abasuubuzi ng'omu ku balwanirizi b'eddembe ly'abantuabanakku abanyigirizibwa. Wabula poliisi yabatebuse mangu ne bagobaganya.
POLIISI ekedde kulwanagana n'abasuubuzi b'kibiina kya "Kampala
Arcades Trader's Association -KATA" ababadde balaga obutali bumativu
olwa kye baayise gavumenti ogwesuulirayo ogwanagamba kunsonga
ezibasoomoza mu akeedi.
Bino bibaddewo olwaleero(Lwakusatu ku makya) abasuubuzi
abakulembeddwa,ssentebe w'ekibiina kino Godfrey Katongole ne
munabyabufuzi Dr.Stella Nyanzi bwe batuuziza olukiiko lwa
banamawulire ku wooteri ya Bilaj mwe bategeereza nti bakooye embeera
y'okulimbibwa nti gavumenti egenda kuggulawo akeedi zabwe
'okukonkomalira ebweru w'ebizimbe byabwe olw'omuggalo
ogwabateekebwaawo emyezi 3 emabega.
"Tukooye okuwudiisibwa abakungu ba gavumenti okuli ba minisita wa
Kampala Betty Amongi n'owebyobusuubuzi Amelia Kyambadde bamaze
ekiseera nga batuguumaza nti essaawa yonna bagenda kutuggulirawo
akeedi zaffe wamu n'okukola kunsonga y'abananyini bizimbe abaagala
okutusasuza ssenet z'ebbanga lye tumaze nga tetukolera mu bizimbe
byabwe",bwatyo Katongole bwe yategeezeza wakati mu nakku.
Ono awagiddwa Stella Nyanzi ategeezeza nti asazeewo okwegatta ku
basuubuzi okutuusa eddoboozi lyabwe eri pulesidenti Museveni gwe
yagambye nti amazze ekiseera ng'asuubiza abantu bano empewo.Era
nawera okulwanirira eddembe ly'abasuubuzi ng'omu ku balwanirizi
b'eddembe ly'abantuabanakku abanyigirizibwa.
Wabula poliisi yabatebuse mangu nebagobaganya