Tuesday, November 3, 2020

Abadde ayogerera ku ssimu ng'eri mu masannyalaze gamukubye n'afiirawo

Abadde ayogerera ku ssimu ng'eri mu masannyalaze gamukubye n'afiirawo

FAUZIYA Namulondo 35, yabadde ayogerera ku ssimu ng'eri mu masannyalaze ne gagiyitamu ne gamukuba n'afiirawo. Namulondo abadde abeera Bweyogerere mu Ntebettebe zzooni mu Kira Munisipaali. Kigambibwa nti yabadde ayoza ngoye n'akubirwa essimu kwe kutandika okugyogererako ng'eri mu masannyalaze.

Wakati mu mboozi, amasannyalaze gaamukubye ne gamukasuka ebweru era baliraanwa abaagezezzaako okumuyamba yabafiiriddeko mu kkubo nga bamutwala mu ddwaaliro. Abadde abeera n'abaana be ng'asembayo obuto wa myezi 7.

Poliisi yatutte omulambo mu ggwanika e Mulago gye gwaggyiddwa okugutwala e Namutumba mu Busoga okumuziika.

ABAKUGU BAWABUDDE KU SSIMU

Okuteeka essimu ku muliro: Ebintu by'amasannyalaze tebikolagana na mazzi era nga waliwo Omungereza, Richard Bull 32, eyakozesa essimu eyali ku muliro n'afa. Essimu yayabika bwatyo n'afuna n'amabwa mu kifuba n'emikono.

Okwogera ng'essimu eri mu chaagya. Bangi twanukula essimu ng'eri ku muliro (mu masannyalaze). Okusinziira ku lupapula The Sun olufulumira e Bungereza, omuwala Ma Ailun, 23, omukozi mu nnyonyi yakola ekintu kye kimu n'essimu ye iPhone 5 mu 2013 mangu nnyo amasannyalaze gano gaayita mu ssimu ne gamutta ng'ebula mbale atuuke ku mbaga ye nga obulago bwe gaabulekako ebisago.

Abakola essimu eno aba Apple baakola okunoonyereza ne bakisanga nti ‘Charger' eno ye yavaako obulemu era abakugu baategeeza nti chaagya bw'ebeera n'obuzibu esobola okuleeta amasannyalaze agenkana voloti 220.

Ekirala eky'obulabe era ekisaanye okwewalwa, kwe kwebaka ng'essimu eri ku muliro. Omuwala Le Thi Xoan 17 ow'e Vietnam yafa mu 2017 oluvannyuma lw'okukosebwa amasannyalaze gano. Kyazuulwa nti yateeka essimu ye mu ssoketi n'agiteeka ku kitanda kye nga bwe yali akola bulijjo n'ebaluka.

Okukozesa obuzindaalo bw'omu matu ng'essimu eri ku muliro. Mu December 2018, Mohd Aidi Azzhar Zahrin 16 nga yali mu tawuni y'e Rembau, Malaysia yasangibwa agudde wansi nga n'amatu gavaamu omusaayi n'akubwa amasannyalaze n'afa. Obubenje obw'ekikula kino buzze bulabibwako mu bitundu by'ensi eby'enjawulo.

Okuteeka ssimu ku muliro n'ogissa wansi wa ppiro.  Dwayne Blanchard ow'e Sunderland, yawulira omukka nga gunyooka okuva mu kisenge kya mutabani we Brandon, yagenda okutuukayo nga ppiro eri mu kuggya mu kifo essimu ya mutabani we we yali wabula yasobola okugifulumya wabweru era ne bawona akabenje akaali kagenda okubagwira.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts