Tuesday, November 3, 2020

Alondodde mukazi we n'amutta n'omwana

Alondodde mukazi we n'amutta n'omwana

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n'amusogga ekiso n'amutta n'omwana waabwe ow'emyaka ebiri. Bino byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo, e Salaama mu munisipaali y'e Makindye, Yusuf Kisekka, amanyiddwa nga "Kaloboozi" omutuuze mu Valley zzooni bwe yalumbye eyali mukyala we, Aisha Namutebi, naye ng'asula mu kitundu kye kimu n'amutta.

Kigambibwa nti mu kiseera Kisekka mwe yalumbidde Namutebi mu muzigo mw'asula ne bba eyamweddiza n'omwana we eyategeerekeseeko erya Shakira nga bba, Mawanda Matovu, yabadde ku mulimu. David Kyomuhangi, amyuka ssentebe wa Valley zzooni yategeezezza nti Kisekka aludde nga yeetayirira Namutebi gwe yayawukana naye nga yeerimbika mu nsonga y'okuwa omwana obuyambi.

Yagambye nti Kisekka abadde amanyiddwa ng'omuvubuka akozesa ebiragalalagala ng'ateebereza nti bye biyinza okuba nga byamutuusizza okukola kino.

Robinah Nambuusi muliraanwa wa Namatovu yategeezezza nti yabadde mu muzigo gwe n'awulira okuleekaana n'ekyaddiridde miranga nga Namatovu agezaako okwegayirira Kisekka obutamutta. Agamba nti olutalo lwonna lwabadde mu nnyumba munda ng'abatuuze baagenze okulutegeerako ng'omusajja amaze okutta Namutebi n'omwana.

Abatuuze baataayizza omutemu ne batandika okumukuba. Mu kiseera kye kimu baagezezzaako okuyoolayoola Shakira kwe kuyita poliisi y'e Salaama eyamututte mu ddwaaliro e Mulago kyokka nti yabadde yaakatuuka n'afa. Poliisi yataasizza Kisekka ku batuuze era olwabadde okutwaliba e Mulago ku kitanda naye n'afa mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti tewali kituufu kyazuuliddwa kyaviiriddeko Kisekka kusalaasala mukyala we Namutebi na mwana waabwe kyokka n'agamba nti kiteeberezebwa okuba nga obuzibu bwavudde ku mwana Kisekka gw'alumiriza nti wuwe, kyokka nga Namutebi oluvannyuma yamumummye bwe yabadde amunonye.

Owoyesigyire yategeezezza nti mu kiseera ssentebe wa zzooni eno we yatemerezza ku poliisi abatuuze baabadde baakubye dda Kisekka ng'okumutaasa yamusanze bamaze okumwasa omutwe oluvannyuma ekigambibwa nti kye kyamutuusizza okufa.

Rahuma Nakitto, maama wa Kisekka omutuuze w'e Ndejje ku luguudo lw'e Ntebe eyasangiddwa e Mulago ku Ssande ng'ajjanjaba mutabani we eyabadde tannafa yategeezezza nga naye bwe yeebuuza ekyabagudde mutabani we okutuuka okutta eyali mukyala we n'omwana n'ategeeza nti embeera ze zibadde za kisirise.

Yagambye nti mutabani we abadde amaze ebbanga lya mwaka nga baawukanye ne mukaamwana we ng'okunoba yagenda n'omwana waabwe omuto Shakira naye gwe yasse. Poliisi yagguddewo omusango gw'okutta omuntu oguli ku fayiro SD 23/31/10/2020 e Salaama.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts