MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba n'okumubika nti afudde. Sulayiman Sowedi Muwonge ategeezezza nti y'ali ku mulwadde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gy'ajjanjabibwa era agamba nti Sheikh Muzaata afunyewo ku njawulo nga yeetaaga kwongera kusabira.
"Sheikh yafunye okutwaanyizibwa n'atwalibwa mu ddwaaliro. Kituufu mulwadde naye si muyi ng'ebyogerwa era ndabyeko n'abamubika ekintu ekitali kituufu. Katusuubire nti abasaasaanya amawulire g'okufa tebakikola mu mutima mubi wabula bantu ba Sheikh abaagala okumanya ekituufu nga balowooza nti okuteekawo ekikyamu lwe bajja okumanya ekituufu.
Naye njagala okubakakasa nti Sheikh tali bubi era akedde kunywa ku caayi ne tumuwa ne ku ky'okulya wamu n'okumira eddagala. Abaagala okuwuliziganya naye amasimu ge tegaliiko era kino yakikoze ku biragiro by'abasawo.
Muwonge okuvaayo bwati kiddiridde amawulire agaabadde gasaasaana ku mikutu gya ‘social media' okuva ekiro nti muyi ate abalala nga bagamba afudde. Agasseeko nti wadde baamukebedde corona tebannafuna byavuddemu.