OFIISA wa poliisi akutte omuwala mu budde bwa kafi yu n'amuggalira mu kaduukulu ke kamu n'omusajja. ASP Suwedi Niwagaba atwala poliisi y'e Kakiri mu disitulikiti y'e Wakiso, ye yasibidde omuwala mu kaduukulu ke kamu n'omusajja. Omuwala yamuggye mu dduuka mw'akolera ng'amulumiriza okukola mu budde bwa kafi yu.
Oluvannyuma lw'omuwala okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi, yategeezezza nga bwe yasobezeddwaako omusajja gwe baamusibye naye. Kigambibwa nti abapoliisi bwe baakitegedde nti amawulire gano gasaasaanye, baayise omuwala ne bamutiisatiisa nga bwe bamulabula obutaddamu kwogera nti yasobezeddwaako ne bamusaba okukyusa sitetimenti.
Baamugaanye okwogera ne munnamawulire yenna ku nsonga zino wabula baagenze okumugaana nga aba Bukedde baamaze dda okunoonyereza ku byonna ebyabaddewo ku Lwokubiri nga October 27, 2020, ne babifuna. Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde omusasi ono yanoonyezza Niwagaba n'amubula.
Yatuukiridde akulira poliisi y'e Kakiri, Hussein Mugarura kyokka n'agaana okubaako ky'ayogera ku nsonga zino n'ajuliza omwogezi wa poliisi oba Niwagaba yennyini ng'agamba nti bye bamubuuza tabimanyi.
OMUWALA ATTOTTOLA Omuwala (amannya gasirikiddwa) yategeezezza nti nga October 27, 2020, ku ssaawa 3:50, abaserikale baagenda ku dduuka w'akolera nga baamusanga ayingiza bintu. Baabuuza maneja waabwe lwaki baali bakyakola ng'essaawa za kafiyu zituuse. Baamuyita n'afuluma wabweru. Kyokka maneja bwe yagaana, baabakwata n'omuvubuka gwe yali akoze naye ne babatwala ku poliisi nga ye baamuggalira mu kaduukulu omwali omusajja eyamusobyako.
MANEJA WA SUPERMARKET AYOGEDDE Maneja wa Supermarket omuwala mw'akola esangibwa e Kakiri, yagambye nti nga wayise essaawa emu ng'abakozi be babakutte, yafuna ekirowoozo ky'okubalondoola wabula n'atya nti bayinza naye okumuggalira olw'ensonga nti yali ajeemedde Niwagaba.
Yagambye nti yasalawo agendeyo ku makya era abakozi be ne babayimbula ku kakalu ka poliisi. N'agamba nti yali tategedde nti omuwala yasibiddwa mu kaduukulu k'abasajja wabula munne omuwala bwe bakola ye yajja n'amutegeeza nti okuva bwe yayimbula yasigala mmanju wa supermarket ng'akaaba era n'abategeeza nga bwe baamusuzizza mu kaduukulu n'omusajja eyamusobezzaako.
POLIISI ERI MU KUNOONYEREZA Amyuka omwogezi wa poliisi ku Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti kituufu omuwala yasula mu kkomera omwali omusajja. Yagambye nti ekiyumba kye baamuteekamu telikyali kkomera nga n'omusajja gwe yasangamu teyali musibe wabula omuntu eyasangibwa ku kkubo ng'ali bubi ne basalawo okumuleeta awummulire awo.
"Ensobi eyaliwo ya kusibira muwala mu kifo awali omusajja era mu kiseera kino tunoonyereza lwaki ekyo kyakoleddwa. n'eky'omuwala okumusobyako nakyo bagenda kukinoonyerezaako