ESSANYU katono littire abasuubuzi b'akatale ka St. Balikuddembe (Owino) mu kkooti enkulu, omulamuzi bwe yayongezzaayo ekiragiro ekikugira KCCA okukyusa obukulembeze bwa SSLOA n'okweddiza emirimu gy'okuddukanya akatale kano.
Omulamuzi Esta Nambayo ye yayongezzaayo ekiragiro kino okutuusa nga January 28, 2021 lwanaawulira omusango aba SSLOA gwe baatutte mu kooti okulemesa KCCA okukyusa obukulembeze bwabwe n'okweddiza obuvunaanyizibwa bw'okuddukanya akatale kaabwe nga bwe babadde bateekateeka okukola.
Bino we bijjidde nga KCCA yamaze okuyiwa baserikale ba poliisi ku mulyango oguyingira ku ofiisi ya ssentebe w'akatale kano n'ekigendererwa ky'okukyusa obukulembeze wamu n'okweddiza emirimu gy'okukaddukanya.
Kyokka enteekateeka eno yayimirizibwa ekiragiro kya kkooti eno okutuusa ku Lwokuna (oluwedde) emisana ng'emaze okuwuliriza omusango ogwatwaliddwaawo aba SSLOA nga bawakanya enteekateeka y'okweddiza akatale n'okukyusa obukulembeze.
Era ekiragiro kino kye kyayongezeddwaayo okutuusa ng'omusango guno gumaze okuwulirwa omwaka ogujja nga January 28. Bino olwagudde mu matu g'abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya SSLOA abaabadde munda n'ebweru wa kkooti ne basanyuka ng'eno bwe beebaza bannamateeka baabwe okwabadde Fredrick Kalema (dayirekita w'ebyamateeka mu SSLOA) ne Richard Latigo, olwa kye baayise okulemesa KCCA okubatwalako akatale kaabwe.
Abasuubuzi era beebazizza kkooti olw'obutapapira nsonga. ABA KCCA BAANUKUDDE Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti beetegefu okugondera ekiragiro kya kkooti okutuusa nga bannamateeka baabwe bababuulidde ekiddako.