Thursday, November 26, 2020

Ebya Muzaata birimu ensonga z'amaka

Ebya Muzaata birimu ensonga z'amaka

SHEIKH Nuhu Muzaata Batte okutwalibwa mu ddwaaliro yasoose kukubwa puleesa olw'ensonga z'amaka. Ensonda mu ffamire ya Muzaata zaategeezezza nti yafuna obutakkaanya ne mukazi we, Klutum Nabunya Muzaata obwavaako Nabunya okuvaako awaka. Kigambibwa nti Nabunya abadde amaze emyezi esatu nga takyasula waka.

Ensonga zino Muzaata yayagala zikwatibwe mu ngeri ya kisajja kikulu n'atwala obuvunaanyizibwa okubuulirira mukyala we n'amujjukiza nga okusowagana bwe kutabula mu bufumbo.

Kyategeezeddwa nti Muzaata ensonga yaziyingizaamu bamaseeka era omukyala bw'ataabawulirizza puleesa ne zirinnya n'atwalibwa mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo ku Ssande. Ajjanjabirwa mu kisenge ky'abalwadde abayi. Kyokka mutabani we, Sulaiman Sowed Muwonge amulabirira mu ddwaaliro yagambye nti embeera ya kitaawe egenda erongooka.

Aba ffamire bagamba nti obulwadde baasooka kuguyita musujja gwa nsiri era Muzaata amaze wiiki nnamba awaka, okutuusa lwe baalabye ng'embeera tetereera ne bamwongerayo mu ddwaaliro. Wabula omu ku baffamire yagambye nti embeera yasajjuddwa nsonga z'amaka.

Era Muzaata yawulirwa nga yeemulugunya olwa mukyala we okumulekerera nga mulwadde n'atabeerawo kumujjanjaba. Muka Muzaata yali akolera mu KCCA ku City Hall, kyokka kati yakyusa akolera mu munisipaali ya Kampala Central.

Mutabani we yagambye: kituufu Sheikh Mulwadde, kyokka si muyi. Eggulo yakedde kwenywesa caayi, yeenaaza, ayogera era buli kyetaago akyetuusaako nga tayambiddwako. Bukedde teyasobodde kwogera na muka Muzaata ku nsonga z'obutakkaanya bwe baafuna.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts