
Omwaka gw'Embalu nga gunaatera okuggwako Abagisu babeera mu keetalo ka kunoonya abatasalibwanga, omwaka gugende okomekkerezebwa nga bonna basalidwa.
Tusanze Eddy Musinga 16 ow'e Namulanda ku lw'e Ntebe nga Abagisu bamuzinisa Embalu naye nga bakutte emigo ng'akabonero akalaga nti talina kutya kyambe.
Ono agenda kusalibwa enkya ku makya ku ssaawa 3 ezoku makya. Musinga akakasizza nga bwali omugumu ennyo era tatidde kutya kubanga ye yeeyagalidde.