Tuesday, December 29, 2020

Poliisi esaba lukusa okuziikula omulambo gw'abadde omukuumi wa Bobi Wine bagwekebejje

Poliisi esaba lukusa okuziikula omulambo gw'abadde omukuumi wa Bobi Wine bagwekebejje

Poliisi ya Uganda yategeezezza eggulo  nti eyagala kusaba kkooti olukusa esobole okuziikula omulambo gwa Frank Ssenteza abadde omukuumi wa Bobi Wine eyaziikiddwa eggulo. 

Kino poliisi eyagala okukikola okuzuulira ddala ekyamusse n'ebisago ebyamutuusiddwaako ku Ssande, ebyamuviiriddeko okufa.

Mu kiwandiiko ekyafulumizza eggulo omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambye nti abawagizi ba NUP baabalemezza okuddamu okukebera omulambo gwa Frank okuzuula ekyamusse nga tebannamuziika .

Aba NUP bagamba nti  Ssenteza yalinnyibwalinnyibwa emmotoka ya militale mu bugenderevu n'afa .

Wabula omwogezi w'amagye Brig. Flavia Byekwaso bino abigaana agamba nti omugenzi yabuuka ku mmotoka, nnamba UBF 850Z (ekika kya drone)" n'afa.

Poliisi egamba nti abawagizi ba NUP baagenze mu maaso n'okuziika Ssenteza noolwekyo poliisi teyasobodde kumwekebejja ekyagootaanyizaamu okunoonyereza kwabwe .

"Ku Ssande nga December 27, 2020,  omulambo gwa Senteza gwaweereddwa abaffamire n'abawagizi ba NUP ne balagibwa bagutwale mu ggwanika e Mulago olw'okwongera okugwekebejjebwa naye aba NUP baasazeewo kugutwala ku ofiisi zaabwe e Kamwokya gye bakubye olumbe, ," Enanga bwe yagambye.

Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa e Villa Maria mu disitulikti y'e Masaka omugenzi gye yaziikiddwa.

"Wabaddewo okwogeraganya n'abaffamire okwabadde ne Major General Elly Kayanja, ne bakkiriza okuddamu okwekebejja omulambo guno mu ddwaaliro e Masaka. Abakugu mu kwekebejja emirambo babuusiddwa mu nnamunkanga okukolera awamu n'abasawo ba ffamire okumanya ekyavuddeko Ssenteza okufa n'ebisago ebyamutuusiddwaako. Wabula bbo (aba NUP) baagenze mu maaso na kuziika nga kino tekikoleddwa. Twewuunyiza enneeyisa y'abantu bano" ekiwandiiko kya poliisi bwe kyagambye.

"Tugenda okufuna olukusa okuva mu kkooti okuziikula omulambo gwa Ssenteza tuzuulirire ddala ekyamusse n'ebisago ebyamutuusiddwaako .

Wabula mu kuziika eggulo Robert Kyagulanyi eyeesimbyewo ku bwapulezidenti ku benderera ya NUP yalaze abantu ebyavudde mu ‘sikaani' nga biraga nti Ssenteza yalinnyibwa ku mutwe akawanga ne kaatika.





Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts