Saturday, December 12, 2020

Aba Owino View Village bakoze bulungibwansi

Aba Owino View Village bakoze bulungibwansi

ABATUUZE ba Owino View Village ekisangibwa mu Kampala Central balaajanidde abakulembeze baabwe okubataasa ku kazambi asusse okukulukutira mu mayumba gaabwe.

Bano basinzidde mu nkola ya bulungibwansi atongozeddwa Meeya wa Kampala Central,Charles Musoke Sserunjogi mu kaweefube ow'okulwanyisa obujama mu kibuga.

Sserujongi Ng'akola Bulungibwansi N'abatuuze Ba Owino View Village.

Abatuuze ba Owino View nga bakulembeddwaamu Ssentebe Farouk Kato, bagamba nti obucaafu bususse olw'emyala egy'azibikira gattako ne KCCA okulwawo okuyoola kasasiro mu basuubuzi.

Basabye Meeya Sserunjogi okubayamba era ne bamulambuza emyala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts