Saturday, December 12, 2020

Bobi azzeeyo mu Lango

Bobi azzeeyo mu Lango

ROBERT Kyagulanyi (Bobi Wine) azzeeyo mu bitundu bya Lango wabula yasanze akaseera akazibu okusala okuva e Kole okudda mu Albatong poliisi bwe yasudde emisanvu n'emuzibira ekkubo.

Ebitundu bya Lango yazzeeyo omulundi ogwokubiri ng'anoonya akalulu ku bwapulezidenti.

Akunze abaayo nti amaanyi gali mu kalulu kaabwe balina okukwatagana
bamulonde mu bungi.

Yasookedde mu disitulikiti y'e Kole gye baamwanirizza mu maanyi mu bubuga
obw'enjawulo nga bayimirira mu luguudo wakati ne bamulagira ayimirire ababuuzeeko bw'amaliriza ne bagoberera emmotoka ye.

Olwatuuse e Kole, n'abategeerezaawo nti ne bwe babeera tebamubuulidde bizibu
bibaluma, by'alabyeko bimala okumutegeeza ebiriyo.

Enguudo ezijjudde ebinnya n'enfuufu ebyamwanirizza yagambye nti byabadde bimumala okumanya abantu baayo obulamu bwe bayitamu.

Yatuukidde ku kibangirizi zawaayitanga oluguudo lw'eggaali y'omukka n'abategeeza nti ebyo bye bikulu by'atandikirako okuzzaawo.

Okwo agatteko okubaddizaawo okulima ppamba kubanga kye kirime ekyakakasibwa nti kidda mu kitundu ekyo era obwetaavu n'emigaso gyakyo bikyaliwo mu Uganda kyokka gavumenti tekiwa maanyi.

Omulundi ogwasooka ng'atalaaga ebitundu bya Acholi yatuuka e Kitgum ne bamutegeeza nti ekifo we yali ategese okukuba olukung'aana tebamukkirizzaawo.
Yayimirira mu kkubo n'ayogera eri abantu kyokka poliisi n'ekuba ttiyaggaasi n'emugumbulula n'abawagizi be.

Ku nteekateeka ya leero addayo e Kitgum, Kalenga ne Lamwo byonna bitundu bya Lango.

Ku Ssande talaga waagenda kubeera kyokka ku Mmande addayo e Karamoja.

Ku Lwokuna akawungeezi poliisi yazingizza Bobi n'abantu be nga batuuka e Nwoya mu bitundu bya Acholi.

Yatuuseeyo ng'essaawa ziyise mu 12:00 akawungeezi ne bamugaana okweyongerayo era waabaddewo akanyoolagano mu Anaka Town Council.

Poliisi ng'eduumirwa Beatrice Akole baakiise kabangali nnya mu luguudo ne bamugaana okweyongerayo.

Abantu mu kitundu baatandise okukung'aana poliisi n'ekuba amasasi ne ttiyaggaasi era
waabaddewo abaalumiziddwa.

Oluvannyuma ng'essaawa zikunukkiriza 2:30 akawungeezi baamulese
ne yeeyongerayo okutuuka e Gulu we yasuze.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts