BANNAMAWOKOTA bawera okutwala ekikopo ky'amasaza omwaka guno bwebatyo baweze emirundi ena gye baakakitwala bukya kiddamu okuzanyibwa mu 2004.
Omwami w'essaza lino Kayima Gabriel Kabonge yeyanjulidde abantu b'ekitundu kino ttimu e Nkozi era n'abasaba bonna nga bakulemberwa bannabyabufuzi okuvaayo okugiwagira n'okugivujjirira.
Maneja wa ttiimu eno ye Suzan Nakawuki ng'ono yakwatidde ekibiina kya NRM mu Mawokota South ate Ssentebe eyayanjuddwa ye Ronald Kavuma.
Mawokota ali mu kibinja eky'okusatu ekiyitibwa Masengere mweeri ne Kyadondo, Bugerere ne Kooki.
Kooki ne Mawokota zezigenda okuggulawo mu kibinja kino nga December 23/12/2020 ku ssaawa 10 ez'olweggulo ku kisaawe e Njeru mu ssaza ly'e Kyaggwe.
Mawokota yakuddamu okuzanya ne Bugerere nga December 26,2020, ezanye Kyadondo nga December 28,2020.
EMPAKA z'amasaza ga Buganda ziggulwawo December 12,2020 mu kissaawe e Njeru-Buikwe mu ssaza ly'e Kyaggwe.