Ven. Canon Godfrey BK Buwembo Ssaabadinkoni w'e Nateete yennyamidde olw'ebikolwa ebitiisa omuli n'okuyiwa omusaayi ebibuutikidde eggwanga mu kiseera kino eky'okunoonya akalulu.
Abadde mu kusaba okwokwebaza okutegekeddwa Ordnand Abraham Kato Nkata okubadde ku kkanisa ya St. Stephens e Bukasa nga yeebaza Mukama Katonda okumuyamba okumaliriza emisomo gy'obwawule.
Okusaba kuno kwetabiddwaako abasumba, bannabyabufuzi abaakulembeddwamu omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Sseggona n'abakristaayo. Buwombo abuuliridde abakristaayo okubeera abeesigwa eri abasumba ababaweebwa baleme okubafuukira ekizibu mu buweereza. Akuutidde n'abafumbo buli omu okubeera omwesigwa eri munne wamu n'abaana okubeera abeesigwa eri bakadde baabwe.
Mu kusaba kuno abakristaayo bakwasizza Ordinard Abraham Kato Nkata ekirabo ky'ekyapa ky'ettaka kye baamuwadde okumwebaza olw'okubazimbira ekkanisa ya St. Stephens Bukasa mu kiseera kyabaddewo ng'omubuulizi.