Tuesday, December 29, 2020

Ebyogerwa ku bubaga obuliko abaana biteekwa okusengejjebwa

Ebyogerwa ku bubaga obuliko abaana biteekwa okusengejjebwa

ENSOBI z'obubaga bwa Kulisi­maasi mwabaddemu n'ekyabage­nyi okusimattula ebigambo.

Ennaku zino obubaga bw'amazaalibwa y'emu ku nkola amaka gye geemalako eki­wuubaalo ky'okwekuumira awaka okwewala obulwadde bwa Covid -19. Era mu nkola eno, amaka gayita ab'emikwano abatonotono basanyukire wamu okusinziira ku muwendo gw'abantu ogwakki­rizibwa Gavumenti.

Naye abagenyi abayitiddwa bwe basituka okwogerako eri abaana, oluusi bawaba mu lulimi. Kale lowooza maama w'awaka bwawulira nga mukyala nney­iba awaanye taata w'abaana we yakyadde n'atuuka n'okugam­ba nti, ‘Dadi w'abaana njagala okukwebaza okuzaalanga abaana abalungi,…era singa si ki nange nandyagadde onzaalemu...!'

Njagala olowooze ekijja mu bwongo bw'abantu abakulu abali ku mukolo. Omusajja gwe bawaanye aba alabye nga bulijjo bamwagalira omwo naye nga amagezi gakyabuze. Ate omuk­yala ayogedde aba amatidde nti gw'agambye amukoledde ppaasi. Kyokka ye omukyala eyafumbirwa omusajja gwe bawaanye amangu ago ennyindo efuuka enkata.

Ne yeevuma nga bwe yeeyitidde empiri ku kabaga k'omwana we. Ne bwe kiba ng'omusajja ye ya­koze sitatimenti eri ey'okuwaana okutaamaze kwebuuza, era abantu abagwa mu matuluba ago batan­dika okutunula ekiziimuziimu. Embeera zino, n'endala omuli okwekuuma mu by'oyogera wad­de otaddemu ku ka bbiya zisaana okwegendereza. Kubanga ku bubaga buno kubeerako abaana. Ate oluusi nga baayiseeko abantu ab'enjawulo, wadde baba nga batono, abatanyumirwa mboozi ggwe z'omanyidde ze munyumya mu mabaala nga mwesiye ama­gengere.

Abalala mwanyiize nga teba­bayise. Ne muloma ebigambo okubimalayo nga bulijjo bwe mumanyi nti muli ba munda nnyo mu maka omwabadde akabaga. Naye ne mwerabira nti nsonga za Covid! Kubanga obulwadde bulina okwewalwa. Bino byonna bye bijja okuva mu kuyiga embeera ya Covid.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts