Wednesday, December 23, 2020

Abalonzi balaga nga Museveni alina obuwanguzi bw'ebitundu 53 ku buli 100

Abalonzi balaga nga Museveni alina obuwanguzi bw'ebitundu 53 ku buli 100

OKUNOONYEREZA okukoleddwa mu balonzi mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo kulaga nti singa akalulu k'Obwapulezidenti kakubwa olwaleero, Yoweri Museveni Tibuhaburwa owa NRM y'akawangula n'obululu ebitundu 53 ku 100.

Robert Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine', owa National Unity Platform (NUP), okunoonyereza kuno okukoleddwa kulaga nti akwata kifo kyakubiri n'obululu ebitundu 30 ku 100 n'addirirwa Patrick Oboi Amuriat owa FDC mu kyokusatu n'obululu ebitundu 4 ku 100.

                       Presindetial Candidates New

Okunoonyereza kuno kwakoleddwa tiimu y'abakugu ba Vision Group efulumya ne Bukedde wakati wa November 2 ne 14, 2020 nga baatuukiridde abalonzi 5,679 okuva mu disitulikiti 45 nga bababuuza gwe bayinza okulonda ku Bwapulezidenti. Ku bantu 5,679 abaatuukiriddwa, abantu ebitundu 74 ku 100 ba mu byalo ate abantu ebitundu 26 ku 100 babeera mu bibuga.

Ekyagendereddwaamu kwabadde kumanya ndowooza z'abantu ng'eggwanga lyetegekera okulonda kwa 2021. Ku baabuuziddwa ,abantu 90 ku buli 100 baalaze nti beetegefu okukuba akalulu nga January 14, 2021.

    Table Candidates

Bwe baabuuziddwa lwaki beesunze okulonda ebitundu 48 ku 100 baalaze nti okulonda ddembe lyabwe,33 ku 100 baagambye baagala kukyusa bukulembeze ate 5 baagambye nti kibakakatako okulonda omuntu w'ekibiina kyabwe.

Abantu ebitundu 4.8 ku 100 baagambye nti bajja kulonda basobole okufuna omukulembeze omwesigwa,3.8 ku 100 baagala mirembe, 2.5 ku 100 baagambye bajja kulonda nga baagala basigale mu mbeera eriwo. Abantu ebitundu 1.5 ku 100 tebaawadde nsonga lwaki bajja kwetaba mu kulonda.

Abalonzi 85 ku 100 baategeezezza nti baamala okukebera n'akakiiko k'ebyokulonda ne bakakasa ng'amannya gaabwe gye gali mu nkalala.

Abantu obwedda babuuzibwa ekibuuza ekigamba nti; "Ani gw'onaalonda mu 2021?"
Olw'okwagala okufuna endowooza zaabwe, obwedda era babuuzibwa "Mu ndowooza yo ani gw'osuubira agenda okuwangula Obwapulezidenti mu kulonda kwa 2021?". Abeesimbyewo bali 11 wabula okunoonyereza kwalaze nti abamu ku beesimbyewo abalonzi tebabamanyi.

MUSEVENI BONNA ABAYISEEKO
Ku bibuuzo byombi, Yoweri Museveni owa NRM ye yakulembedde n'ebitundu 53 ku 100 abaakakasizza nti gwe bajja okulonda. Kyokka abawera 64 ku buli 100 balina endowooza nti Museveni y'ajja okuwangula.

Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP y'ali mu kyokubiri n'ebitundu 30 ku 100 abaalaze nti gwe bajja okulonda ku bwapulezidenti. Abantu 24.8 ku 100 be bamativu nti Bobi Wine agenda kuwangula obwapulezidenti.

Patrick Oboi Amuriat ali mu kyakusatu n'abantu 4 ku buli 100 abakkiriza nti gwe bagenda okulonda ku bwapulezidenti.
Mu kyokuna mulimu pulezidenti wa DP Nobert Mao ng'oyo abantu 2 ku buli 100 be bagenda okumulonda. Mugisha Muntu owa ANT ali mu kyakutaano n'omuntu 1.6 ku buli100.

Okunoonyereza kuno okwakolebwa nga kampeyini zaakatandika, kulaga nti abantu baagadde nnyo abeesimbiddewo ku tiketi z'ebibiina byobufuzi. Abavuganya bonna abatalina bibiina byabufuzi tebaweza muntu omu ku buli 100 eyasuubizza okubalonda.
Muntu yaddiriddwa Nancy Kalembe (0.9), Joseph Kabuleta (0.6) ate abanaalonda Lt. Gen. Henry Tumukunde bali (0.5). John Katumba (0.4), Fred Mwesigye (0.2) ne Willy Mayambala (0.1).

Abantu 4.6 baabadde tebeekakasa muntu gwe bagenda kulonda ku beesimbyewo bonna 11 ekitegeeza nti, wakyaliwo abantu abatannaba kusalawo waakulonda.

Okunoonyereza New Vision kwe yasembayo okukola mu March kwalaga nti Museveni yali akulembedde n'ebitundu 50 ku buli 100 nga Robert Kyagulanyi amuddirira alina ebitundu 21 ku buli 100.

EKIRI MU BIBUGA NE MU BYALO
Okunoonyereza kwalaze nti wadde nga Kyagulanyi alina obuwagizi mu bibuga, kyokka Museveni amuleebya nnyo mu byalo ate Amuriat bali 4 ku buli 100. Mu byalo, abaalaze nti bagenda kuwagira Museveni bali ebitundu 57 ku buli 100 ate Kyagulanyi bali ebitundu 27 ku 100.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts