Thursday, December 3, 2020

Engeri bbeeyi y'obujjanjabi esukkiridde bw'etta abalina kookolo w'obusajja

Engeri bbeeyi y'obujjanjabi esukkiridde bw'etta abalina kookolo w'obusajja

Obulwadde bwa kookolo w'obusajja "prostate cancer" edda abantu nga babumanyi nti bukwata abasajja abakuze mu myaka bokka naye embeera eriwo yeeraliikirizza kubanga n'abakyalina embavu tabataliza.

"Nze yankwata nkuze, bwe nayingira emyaka 60, ne ndaba ng'embeera yange ekyukakyuka nga nfuyisafuuyisa ekiro n'enkola yange ey'emirimu nayo ng'egenda ekyuka". Mukasa Kyeza bw'agamba Agamba: "Ebiseera ebimu nga bwe ng'enda mu kaabuyonjo nsangamu obupande obusomesa ku bubonero bwa kookolo ono.

Naye lumu bwe na busoma nga ndaba bye boogerako tebyawuka n'embeera gye ndimu ne ndaba ng'obulamu bwange buli mu matigga. Bwe nagenda ew'omusawo wange n'ansindika e Mulago bankebere. Omusawo eyankebera yantegeeza nti nnina kookolo w'obusajja "prostate cancer" naye n'ang'amba nti ekirungi nzize mangu era ne ntandika obujjanjabi.

Mu kiseera kino nnaakafunako empiso ssatu era nzifuna buli luvannyuma lwa myezi esatu, nga bazinkuba ku lubuto. Nkubiriza abasajja abawezezza emyaka 40 okwekebeza obulwadde buno kubanga abasajja abasinga beesuulirayo gwa nnaggamba ku nsonga ezikwata ku byobulamu bwabwe. Naye nze okuva lwe namanya ekinnuma ne nfuna obujjanjabi kati mpulirawo enjawulo nnene.

Okusoomoozebwa kwe nfuna kwa kwesasulira bujjanjabi buno kubanga sikyakola. Waliwo amakerenda ge nnina okugula nga ga ssente nnyingi, doozi emmazaako omwezi ngigula 129,000/- naye wadde guli gutyo, obujjanjabi buno nfuba okulaba nga mbwetuusako," Samuel Mukasa Kyeza bw'agamba.

Samuel Mukasa Kyeza.

Dr. Jacinto Amandua ng'ono yali akolera mu minisitule y'ebyobulamu y'omu ku basajja abalina kookolo ono era agamba nti kookolo ono atwala ssente nnyingi okujjanjaba. "Nze ssinga gavumenti teyankwatirako ssente sandizisobodde kubanga okwekebeza kwokka kumalawo wakati wa 100,000/- ne 200,000/-, okukebera mu ttivvi kwa 300,000/-. Obujjanjabi bwe nasooka okufuna bwamalawo 30,000,000/- mu 2012.

Dr. Jacinto Amandua.

Oluvannyuma ne bankyusiza obujjanjabi bwe baakizuula nga buli tebukozeeko bulungi nga nabwo bwamalawo 70,000,000/-, n'obujjanjabi obulala bwe bampa bwo bwamalawo 80,000,000/- kuba nafuna obujjanjabi bwa kookolo obwa "chemotherapy" emirundi ebiri mu myaka ebiri.

Mu kiseera kino nasigalira kuddayo mu ddwaaliro ne bankeberako, bankebera omusaayi, ne bankuba ebifaananyi (x-ray) ne bankebera ne mu kativvi era nga buli mwaka bino bimalawo wakati wa 1,000,000/- ne 1,500,000/-. Naye ssente zino omuntu waffe owaabulijjo tazisobola ekibalemesa okufuna obujjanjabi obulungi.

Abasajja abalina obulwadde buno bangi naye ekintu kyokka ekiyinza okututaasa kwe kumanyisa abantu ebikwata ku bulwadde buno babumanye basobole okubwewala oba okwekebeza nga bukyali. Nabuli kati nkisabirira nti obujjanjabi bwa kookolo abantu bandibade babufunira ku bwereere okusobola okutaasa abantu baffe.

Samuel Majwega Musoke ssentebe w'ekitongole ekiri mu kaweefube w'okumanyisa abantu obulwadde buno, ekya Prostate Gland Innitiative agamba nti; abaami bonna bali ku bwerende obw'okulwala obulwadde buno noolwekyo, buli musajja yandisaanye okubwekebeza.

" Nga tutandikawo ekibiina kyaffe kino, twakizuula ng'obulwadde buno bwebusinga okutta abasajja mu Uganda. Obulwadde buno bukwata basajja bokka era bwe tugenda tukula. akatungulu k'abaami (prostate gland) kagenda kagejja ekivaamu okulwala kookolo w'obusajja. Era tukubiriza abasajja bonna okwekebeza nga bukyali naye ekizibu kye tusanga, abasajja abasinga batya okwekebeza.

Paul Ebusu.

Mu kusooka babeera bafuyisa naye ng'omusulo tegujja nga balowooza nti bulwadde bwa kikaba ate nga bwe bafukaafuka ennyo ekiro nga balowooza nti ssukaali y'akireeta ne babuzaabuzibwa. Chris Kwezira owa Uganda Non Communicable Diseases Alliance ne Paul Ebusu owa Uganda Cancer Society bagamba nti ebitongole ebirwanyisa obulwadde bwa kookolo birina okukwatira awamu okulaba ng'obulwadde bwa kookolo w'obusajja bufuuka olufumo mu ggwanga.

Era bakubiriza abasajja abawezezza emyaka 40 n'okweyongerayo okufaayo ennyo okwekebeza kookolo ow'ekika kino kibasobozese okumanya bwe bayimiride nga bukyali. Abakugu mu kujjanjaba kookolo balabude abasajja begendereze nnyo obudde bwebaliiramu ekyegulo ne bwebeebakirako kubanga bangi bali mu katyabaga kokukwatibwa ekirwadde kya kookolo.

Chris Kwezira.

Kwizira akikkaatiriza nti abasajja abalya ekyegulo okusussa saawa nnya ez'ekiro ate ne beebakirawo bali mu katyabaga k'okukwatibwa kookolo w'akatungulu k'abaami amanyidwa nga (prostate cancer) era ng'asinga kutulugunya abasajja abasusizza emyaka 40 n'okweyongerayo.

Yategeezezza nti abasajja baagala nnyo okulya emmere ng'omuccere, akawunga, chapatti n'ebiringa ebyo ekibateeka mu bulabe bw'okukwatibwa kookolo ono. Naye abantu abalya emmere nebalindako esaawa bbiri nga tebanneebaka oba okulya ekyeggulo nga tezinawera ssaawa nnya ez'ekiro, bakendeeza ku bulabe obw'okukwatibwa ekirwadde kino ebitundu 26 ku buli 100.

Dr Noleb Mugisha omukugu mu kujjanjaba kookolo mu ddwaaliro lya Uganda Cancer Institute e Mulago annyonnyola nti; kookolo ono y'asinga okuyisa obubi abasajja mu Uganda era mu mwaka gwa 2018, abasajja abalwala kookolo ono baali 2,086 mu Uganda nga 1,177 ne bafa obukwadde buno.

Ebimu ku bikuteeka mu bulabe bw'okufuna kookolo w'akatungulu k'obusajja mulimu; Omusaayi Kookolo w'akatungulu k'obusajja atambulira mu musaayi, bwe wabaawo owooluganda lwo amulina okugeza kitaawo oba muganda wo, obulabe bw'okumufuna bweyongera.  Omusajja bw'aba nga takola dduyiro oba emirimu egy'amaanyi kyangu ky'okukwatibwa kookolo ono. Okugejja ennyo kubanga abasajja abasinga tebakozesa mibiri gyabwe.

Edda abasajja baakolanga emirimu egy'amaanyi nga okulima, okuvuga eggaali, oluusi nga batindigga eng'endo empanvu ekibayamba okukozesa emibiri gyabwe, ekitakyaliwo ennaku zino, bino bibateeka mu bulabe bw'okufuna kookolo eno.

Okulya amasavu amangi: Era okunoonyereza kulaga nti okulya ennyo ebintu ebiva mu mata ng'amata gennyini, omuzigo, yogati n'ebirala, byongera okuteeka obulabe bw'okufuna kookolo ono. Omwewala otya ? Eby'embi, kookolo agenda okweraga abeera amaze ebbanga mu mubiri naye osobola okwewala okukukwata:

Ekisooka mu byonna olina okunyiikira okwekebeza kikusobozese okumanya bwoyimiride naddala ng'osussa emyaka 40, ne bw'oba tonnaba kufuna kabonero konna. Weetaaga okukola dduyiro okusobola okutangira omugejjo naamasavu amabi mu mubiri ekiyambako okwetangira kookolo ono.

Wewale okulya ennyo emmere eyamasavu naddala eva mu mata kikuyambe okukendeeza amasavu mu mubiri. Olina okunnyikira okulya obulungi naddala ebibala n'enva endiirwa okusobola okuddaabiriza obutafaali bw'omubiri.

Okwewala okunywa ennyo omwenge, sigala n'ebiragalalagala ebirala nakyo kitaasa obutakwatibwa kookolo. "Naye eky'omukisa ekika kya kookolo kino tusobola okukinoonyereza mu musajja nga tannaba kumulwala netukizuula. Tusinziira ku bubonero nga kino kiyamba okufuna obujjanjabi nowonera ddala.

Tutandikira ku myaka 50 okukebera abasajja kookolo w'obusajja naye abo abamulina mu ffamire zaabwe tubakeberera ku myaka 40. Tukebera mu nkola gyetuyita ‘Prostate Specific Antigen' (PSA) ne twekenneenya mu lubuto okulaba oba olinamu obuzimba. Wabula kookolo ono abeera mu basajja abakuliride mu myaka myaka 60, 70 oba 80 naye ng'atandikira mu myaka 50 oba 55 era kirungi okutandika okumwekebeza ku myaka 40 ," Dr Mugisha bwatyo bw'agamba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts