Abatuuze b'e Kitala mu Katabi Town Concil bavudde mu mbeera ne baggala oluguudo nga baagala poliisi egende eggulewo ennyumba omwafiiridde omukyala Sarah Namubiru.
Abatuuze bategeezezza nti omukyala ono basuubira yafa ku Lwamukaaga ekiro ne bakubira poliisi nga kati zibadde nnaku bbiri ng'egaanyi okubaanukula ekibaleetedde okuva mu mbeera ne baggala oluguudo. Poliisi oluwulidde bino ne bayingirawo misinde okutaasa embeera.
Poliisi emenye oluggi ne baggyayo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okugwekebejja n'okunoonyereza kiki ekyamusse.
Mu kiseera kye kimu batabukidde ssentebe waabwe Godfrey Mugerwa nga baagala abaviire nga bagamba nti talina ky'abayamba.
Source