Monday, December 7, 2020

Ebyokwerinda binywezeddwa ng'abasuubuzi basenguka

Ebyokwerinda binywezeddwa ng'abasuubuzi basenguka

Ebyokwerinda binywezeddwa mu katale k'e Kasubi abasuubuzi ababade bakolera ku kkubo bwe baabadde basenguka n'okusomba ebintu byabwe okuyingira akatale akapya.

Abakazi nga basitudde emmaali yaabwe.

Abasuubuzi bano baweereddwa ennaku bbiri zokka okwamuka ekifo kino nga batandise leero. We tukoledde eggulire lino ng'abamu ku basuubuzi baatandise dda okusomba emmaali yaabwe okugiyingiza mu katale wakati mu bukuumi obw'amaanyi nga beekengera ekiwayi ky'abasuubuzi ababadde bawakanya okuyingira akatale akapya nga bawoza nti kafunda.

Ono emmaali ye yagitwalidde ku kagaali.
Abasuubuzi nga batikkula ebintu byabwe ku boodabooda.
Abasuubuzi nga babannyonnyola okukkiriza enkyukakyuka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts