PULEZIDENTI Museveni yakomekkerezza okunoonya akalulu mu Ankole era ng'abantu b'omu kitundu kino baliko ebintu ebiwerako bye baamusabye okwongera okubakolera.
Ankole erimu disitulikiti 12 okuli Bushenyi, Buhweju, Kiruhura, Ibanda, Isingiro, Ntungamo, Mbarara, Mitooma, Rubirizi, Sheema, Kazo ne Rwampara.
Minisita w'ebyenjigiriza, Janet Kataaha Museveni, ono nga nzaalwa ya Ntungamo so ng'ate ye ssentebe wa disitulikiti ya NRM e Ntungamo yatenderezza pulezidenti Museveni ne gavumenti ya NRM olw'enkulaakulana ey'omuggundu mu bitundu bya Ankole naddala enguudo, ebyenjigiriza, ebyobulamu, amakolero n'okukwata abavubuka ku mukono okulwanyisa obwavu .
Wabula aliko bye yasabye pulezidenti okwongera okubakolera omwabadde okuwa bassentebe ba NRM ab'ebyalo obugaali nga bw'azze akola mu bitundu ebirala.
Yagambye nti amalwaliro gazimbiddwa mu kitundu naye gakyetaaga okwongera okuteekebwamu ebikola.
Minisita omubeezi mu minisitule y'ekikula ky'abantu, Mwesigwa Rukutana yajjukizza pulezidenti nga bwe beetaaga disitulikiti y'e Ntungamo ekutulwemu disitulikiti ssatu kiyambeko okwongera okutuusa obuweereza ku bantu.
Abakulembeze okuva mu disitulikiti y'e Rwampara okwabadde Rwampara County ne Rwampara East konsitityuwensi baategeezezza pulezidenti nti engeri ekitundu ekisinga obunene ekya disitulikiti eno bwe kiri eky'ensozi, beetaaga okuweebwa ebyuma ebyetongodde ebikola enguudo kiyambeko mu kukola enguudo eng'umu engeri gye kiri nti ekitundu kya nsozi, zoonooneka mangu.
Ekitundu kino era kikyatawaanyizibwa n'amazzi amayonjo nga bano baagala gavumenti eyongere okubakolera ku kusoomoozebwa kuno.
Abantu b'e Rwampara era basabye okuyambibwako okufuna ebyapa nga bagamba nti bangi beeyambisa obutamanya bwabwe okubatwalako ettaka lyabwe.
GREATER BUSHENYI
Abakulembeze ba NRM okuva mu disitulikiti ttaano ezikola greater Bushenyi okuli Buhweju, Rubirizi, Mitooma, Sheema ne Bushenyi nabo baliko bye basabye.
Ssentebe wa NRM mu disitulikiti y'e Bushenyi, Hajji Hassan Basajjabalaba yaloopedde pulezidenti enjawukana mu bannakibiina mu kitundu kino ekivuddeko abo abaawangulwa mu kamyufu ate okwesimba ku bannaabwe abaawangula bendera.
Yasabye ekibiina kyongere okunyweza mu mateeka okukugira abo ababeera bawanguddwa okwesimba ku bannaabwe.
Ebirala bye baasabye pulezidenti okubakolerako kwe kuli okukkiriza alonde abantu abava mu Ankole okutuula ku kakiiko ak'oku ntikko okuddukanya ekkolero eryongera omutindo ku matooke nga bagamba nti abaddukanya ekkolero lino mu kiseera kino omulimu bagukola kasoobo.
Bajjukizza pulezidenti nti abalimi abaggibwako endokwa z'amajaani mu disitulikiti y'e Bushenyi ne Buhweju ezaagabibwa abalimi mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo ne gye buli eno tebasasulwanga.
GREATER MBARARA
Aba greater Mbarara okuli Isingiro, Ibanda, Kiruhura, Kazo, Mbarara City ne Mbarara disitulikiti baliko bye basabye.
Minisita omubeezi ow'ebyamagana, Lt.Col. Bright Rwamirama yasabye pulezidenti nti gavumenti esaanidde okugonjoola ensonga z'ensalo ya Uganda ne Tanzania.
Bano baamusabye okwongera okufunira amata n'amatooke gaabwe ge babeera nago mu
bungi akatale ssaako okubazimbira amakolero agakola amata g'obuwunga n'okwongera okubazimbira enguudo, amalwaliro n'okutereeza ebyenjigiriza.
Pulezidenti mu kwanukula yawadde abantu b'e Ankole essuubi okusingira ddala ku nsonga y'akatale bwe yategeezezza nga bw'akola obutaweera okulaba ng'amawanga agali ku lukalu lwa Afrika geegatta okumalawo ekizibu kino.
Yatongozza enguudo bbiri okwabadde n'oluva e Ntungamo okutuuka ku nsalo y'e Rwanda nga kw'otadde n'okusuubiza okwongera okubakolera enguudo endala.
Oluvannyuma lw'okuwummuzaamu ennaku 2 mu kkampeyini ze, pulezidenti
azzeemu olwaleero nga December 12 okuwenja akalulu ng'atandikidde mu bitundu by'e
Kigezi e Kabale.
Source