ABATUUZE mu bitundu eby'enjawulo okwetooloola konsituwensi ya Lubaga South, balaajanye ku bizibu ebibaluma omuli; emyala emibi enzizi embi, kasasiro ayitiridde, obutaba na kaabuyonjo mu bitundu ebimu naddala mu Ghetto, enguudo embi, enkaayana z'ettaka n'ebirala.
Bino baabigambye Aloysius Mukasa Talton Gold omu ku beesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti ekya Lubaga South ku kaadi ya NUP. Mukasa abadde mu kakuyege w'okunoonya akalulu nju ku nju mu bitundu okuli; Busega, Kabowa, Ndeeba, Najjanankumbi, Nateete, Mutundwe n'ebirala.
Mukasa asabye abantu okumuyiira akalulu nga January 14, 2021 ku kabonero ke aka manvuuli era n'abasaba okulonda Robert Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine' naye owa manvuuli ku Bwapulezidenti olwo basobole okukolera awamu okukulaakulanya ebitundu mu bukulembeze obumu.
Mukasa yennyamidde olw'embeera gy'asanze mu byalo, okuba ng'ebitundu ebimu bigabana kaabuyonjo emu abantu abasukka mu 50 ate ng'abamu beeyamba mu myala, basula bubi, n'ategeeza nti ebyo bye bimu ku by'agenda okutandikirako ng'atuuse mu ntebe y'obubaka bwa Palamenti obwa Lubaga South okulaba ng'akyusa embeera z'abantu n'ebitundu.
AKIISE E MMENGO: Ku Lwokubiri, n'abalala abaavudde mu Lubaga baakiise e Mmengo okutwalayo Oluwalo. Yaguze satifikeeti ya 1,500,000/- ne yeeyama okukulembeza ensonga za Buganda Ssemasonga okulaba nga Buganda edda ku ntikko.
Christopher Bwanika Ssaabawolereza wa gavumenti y'e Mmengo era minisita wa gavumenti ezeebitundu e Mmengo, yasiimye Mukasa olw'amakula ge yatutte n'asaba abantu bulijjo okudduukirira omulanga gwa Buganda bwe wabaawo ekyetaagisa. Oluvannyuma yakwasizza Mukasa satifikeeti n'amusiima omutima omugabi nti era takoma ku luno lwokka wabula ayongere okuwagira Obuganda.