MINISITA w'ebyamakolero n'obusuubuzi, Amelia Kyambadde alabudde abavubuka okukomya okwenyigira mu ffujjo n'okuyuza ebipande by'abeesimbyewo.
Bino Kyambadde yabyogeredde Kataba - Nakirebe mu ggombolola y'e Kiringente mu disitulikiti y'e Mpigi ku Lwokubiri bwe yabadde asisinkanye abawagizi be okubanjulira enteekateeka ze ez'okunoonya akalulu akanaamuzza mu palamenti okukiikirira abantu b'e Mawokota North.
Yagambye nti gavumenti tegenda kutiiririra muntu yenna aneenyigira mu bikolwa by'okutyoboola eddembe ly'abalala ng'ono yanokoddeyo ebyaliwo mu kwekalakaasa okwaliwo omwezi oguwedde omwafiira abantu 45 n'abalala bangi ne balumizibwa. Yalabudde abeefunyiridde okuyuza ebipande bya bannaabwe okukikomya n'agamba nti anaakwatibwako waakuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka.
Wabula yalaze okutya olw'okuba nga kino kisinze kukosa bannakibiina kya NRM nga naye ng'omuntu ebipande bye bingi bizze biyuzibwa. Yalabudde abantu abaagala okukulembera kyokka nga beefunyiridde okuvuma bannakkibiina kya NRM nga n'abamu amaanyi ge balina bagafunye mu NRM.
Kyambadde yasomesezza abantu ku nteekateeka ya gavumenti eya ssente z'emyooga n'akubiriza Bannamawokota ne Bannayuganda bonna okwenyigira mu nteekateeka eno. Yabasabye okulonda abakulembeze abalina obusobozi okubasakira mu gavumenti ssaako okulonda pulezidenti Museveni ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga.
Abatuuze baamuloopedde emivuyo egyetobese mu kitongole ekivunaanyizibwa mu kubunyisa amazzi amayonjo ekya National Water and Sewarage corperation olw'okubasindikira kkampuni ya Umbrella gye bagamba nti ebasaba ssente nnyingi okubayunga ku layini z'amazzi.
Kyambadde yagambye nti kkampuni eno buli wamu bagikaaba era agenda kuwandiikira be kikwatako okulaba ng'ekizibu kino kinogerwa eddagala mu bwangu.