OKUBALA abantu okwasembayo mu Uganda mu 2014 kwalaga ng'abantu abasoba mu bukadde bubiri (2,129,279) balina obulemu ku maaso era tebalaba bulungi oba tebalabira ddala.
Kitegeeza nti ne bw'omuwa akalulu tasobola kwawula nti ono gundi oba oli ye gundi. Eriiso kitundu kikulu nnyo ku mubiri gyaffe era bwe lifuna obuzibu likosa obulamu bw'omuntu ne limulemesa okutuukiriza ebiruubirirwa bye nga Maria Birungi bw'alaga: "Nze Maria Birungi nga mbeera Namugongo.
Muwala wange yali asomera mu kisulo naye nga takola bulungi kyokka nga siraba kimutawaanya. Nakola ekisoboka okulaba ng'ensoma ye ekyukamu naye nga tewali njawulo ne mmuvaako nga ndowooza nti ge magezi Katonda ge yamuwa. Lumu omusomesa we yakizuula nti tayagala kutuula mabega nga buli kiseera tebamusanga ku ntebe ye era ne batandika okulondoola empisa ze kuba baali balowooza nti ayagala kuzannyira mu kibiina nga banne basoma.
Buli lwe baamugobanga mu maaso nga by'akoppa ku lubaawo bibeeramu ensobi okutuusa bwe baamuwa ekifo ky'omu maaso. Nagenda okuddayo okumukyalira ng'asomye bulungi olwo abasomesa kwe kuhhamba nti talaba bulungi nange we nategeerera nti alina obuzibu ku maaso ne mmutwala mu ddwaaliro. Bwe baamukebera omusawo n'akizuula nga talaba bintu biri wala ne bamuwa gaalubindi n'atereera.
2: Ensenke; Obulwadde buno nabwo butawaanya abantu era buleeta obukosefu ku liiso. Buli lw'okuba eriiso oba okufuna akabenje ku liiso, ekirabirwamu ky'eriiso kisobola okukosebwa ekyongera obulabe bw'okufuna ensenke.Abaana abamu bazaalibwa n'ensenke, ekivaako amaaso okunafuwa nga talaba bulungi.
3: Okukozesa eddagala ly'amaaso obubi; Abantu abamu bagula eddagala ly'amaaso eritasaanidde kukozesebwa ku maduuka ne batandika okulikozesa olwokuba eriiso limusiiye. Oluusi omwana bw'azaalibwa nga tannatuuka n'ateekebwa ku kyuma ekiyamba okussa, omwana ono n'ebitundu by'omubiri gwe ebirala bibeera tebinnaba kukula nga n'amaaso mw'ogatwalidde.Waliwo obusuwa obukula mu maaso ge obwetondamu wabula busobola okukutuka ne buyiwa omusaayi mu maaso sinakindi okuleetamu enkovu . Kino kiyinza okumuziba amaaso.
4: Amaaso okuyimbaala.
Ebiseera ebisinga kijja lwa myaka era abantu abakuze batera okusanga obuzibu mu maaso , waliwo abatasobola kulaba bya kumpi oba abalaba eby'okumpi naye nga tasobola kulaba bintu biri walala. Obukosefu buno ebiseera ebisinga bujjanjabwa na kukuwa gaalubindi kyokka bw'otagejjanjabisa mangu oba n'ogaana okwambala gaalubindi ze baba bakuwadde, amaanyi g'amaaso go gongera okunafuwa kuba buli lw'okaka amaaso go okulaba bye gatasobola, emisuwa gy'amaaso gyongera okunafuwa ekivaako amaaso okufa.
5: Obulwadde; Naddala puleesa oba ssukaali. Eriiso libeerawo ku lwa musaayi, naye bwoba olina obulwadde bwa ssukaali, ofuna obusuwa obwetondawo ku maaso kyokka obusuwa buno busobola okukutuka ne buyiwa omusaayi mu liiso ne buleetamu enkovu ekivaako amaaso okukosebwa. Obulwadde buno buleeta ekifu ku maaso, ebitaatata mu maaso, tosobola kulaba bifaananyi bijjuvu, okulaba ebimunyenye n'obuzibu obulala.
6: Yinfekisonizi z'amaaso: Zino ozifuna ssinga okwata ng'okutte ku masanda n'okwata mu maaso. Okufumbira ennyo mu mukka kireeta obusekere olw'ebbugumu eringi. Okukolera mu kkampuni ezitabula eddagala oba ebiragalalagala , kireeta amabwa g'oku maaso naddala ag'oku mmunye ekiyinza okuvaako emmunye okufa.
7. Ekika; Ye Samuel Birungi omusawo w'amaaso okuva Dr . Agarwal's Eye Hospital annyonnyola nti bwekiba nga waliwo eyalwalako obulwadde bw'amaaso mu famire yammwe ne mu mirembe egijja mu baana b'ozadde kisoboka okubakwata naddala puleesa y'amaaso n'endala. Era ssinga ofuna obulwadde bwa puleesa oba ssukaali, obeera mu bulabe okufuna puleesa y'amaaso.