Monday, December 21, 2020

Barbie alidde matereke n'abapoliisi e Ishaka

Barbie alidde matereke n'abapoliisi e Ishaka

MUKYALA wa Robert Kyagulanyi, Barbie Itungo Kyagulanyi yalidde matereke n'aduumira abaserikale ba Poliisi abakkakkanya obujagalalo abatambulira ku bba.

Barbie okutabuka baabadde mu bitundu by'e Ishaka ku Lwomukaaga nga Robert Kyagulanyi akwatidde NUP bbendera ayigga akalulu.

Baabadde bagenda mu bitundu by'e Rubiriizi kyokka bwe baatuuse mu kkubo ne bagaanibwa. Abaserikale mu ngeri y'okugumbulula abawagizi ba NUP baakubye mu bawagizi omukka ogubalagala ekyavuddeko akavuyo.

Barbie Ng'anoonyeza Bba Akalulu.

Aba NUP baalemeddeko ekyaviiriddeko eyabadde aduumira poliisi okulagira basajja be okufuuyira omumyuka wa NUP e Bugwanjuba Jolly Mugisha kaamulali mu maaso.

Barbie yavudde mu mmotoka mwe yabadde ne bba Robert Kyagulanyi n'alumba omuduumizi ono eyategeerekeseeko erya Mukiibi ng'amubuuza ekyamuviriddeko okufuuyira omukyala ono kaamulali mu maaso, Beezoobye okumala ekiseera okutuusa bba Bobi bwe yazze n'amuyita badde mu mmotoka.

Wano Mukiibi yeewozezzaako nti yabadde afuuyira ba bodaboda, kaamulali n'awaba n'akwata Mugisha.

Oluvannyuma beeyongeddeyo e Rubiriizi, Kyagulanyi gye yayongedde okukasa abaayo nti kati kiseera kya bavubuka era bamwesige nga bamuyiira obululu awangule obwapulezidenti.

Ku Ssande Kyagulanyi yakedde mu Klezia esangibwa ku kigo ky'e Nyamitanga mu Mbarara okumuwa omukisa.

Fr. Deus Twesigye yamwanirizza n'akkiriza okumuwa omukisa kyokka n'amugaana okubaako ky'ayogera. Fr. Twesigye ye yamwogeredde bwe yategeezezza abazze okusinza nti, "Wuuno azze anoonya kalulu, sigenda kumukkiriza kukubira wano kampeyini ze naye mumulabye abaagala mumuwe akalulu naye gwo omukisa ngumuwadde!"

Olwamaze okuweebwa omukisa, Kyagulanyi, Barbie ne ttiimu ya NUP ne beeyongerayo mu kibuga Mbarara.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts