EYALI Ssabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe Magunda awaddeyo mu butongole amaka g'obwa Ssabalamuzi eri eyamuddira mu bigere Alfonse Owinyi Dollo.
Amaka gano gasangibwa Nakasero nga eri abali mu ssigga eddamuzi bagamanyi nga "State House of the judiciary". Gano gasulibwamu Ssabalamuzi abeerawo mukiseera ekyo.
Dollo okuyingira amaka gano kidiridde Katureebe okuwumula emirimu gy'obulamuzi nga June 20, 2020 n'amaka nagavaamu era pulezidenti Museveni n'alonda Dollo okumuddira mu bigere nga kati yagenda okutandiika okugabeeramu.
Omukolo guno gubadde mu maka genyini e Nakasero nga Katureebe yawerekeddwako mukyala we Benadete Katureebe ne Dollo n'awerekebwako owuwe Nakachwa ssaako n'abagenyi okwabadde omuwandiisi w'essigga eddamuzi ow'enkalakalira Pius Bugirimana, abalamuzi ba kkooti ez'enjawulo okuva ku y'okuntiko paka wansi era bamukwasizza ekirabo nga bamwebaza byakoledde essiga eddamuzi.
Katureebe bweyabadde awaayo ennyumba eri Dollo yagambye nti abalamuzi bonna balina okukiteeka mu bwongo bwabwe nti kiseera kituuka ne bawumula.
Yabakubirizza okusooka okweteekamu ak'obuntu nga basala emisango era baleme okukambuwalira banamateeka mu lugyudde n'okuwa abantu ekitiibwa yadde nga babeera mu bitiibwa by'obulamuzi.
Yakuutidde Dollo okumanya abantu abali mu bitongole ebyenjawulo abagalizza essiga eddamuzi ebirungi nabo abatalina kalungi kebabagaliza n'obutatittirira kusala misango kasita abeera nga asala mazima.
Ye Dollo yeebazizza Katureebe olwokulembera essiga eddamuzi obulungi, okubeera omukakamu nokwagaliza abalamuzi banne ebirungi.