Saturday, December 12, 2020

Gavt. egabidde ba RDC mmotoka kapyata 55

Gavt. egabidde ba RDC mmotoka kapyata 55

MINISITA w'ensonga z'Obwapulezidenti, Esther Mbayo akwasizza mu butongole ba RDC, ne ba RCC emmotoka kapyata 55 basobole okukola obulungi emirimu gya Gavumenti egyabaweebwa.

Mbayo yagambye nti we yajjira mu minisitule eno mu 2016, ba RDC abaalina emmotoka baali babalirwa ku ngalo ate nga zonna ganyegenya.

Yasalawo okutandika kaweefube w'okubafunira emmotoka empya era mu November
wa 2019 Gavumenti yawa ba RDC emmotoka 65 kwe kwongerezeddwa
zino 55. Yagambye nti kati ba RDC bonna beevuga ne ba RCC ba Kampala nga kati
bagenda kukola ku bamyuka ba ba RDC. Omukolo guno gwabadde ku kisaawe e Kololo  nga December 10, 2020.

Mbayo yeebazizza Pulezidenti Museveni olw'okumuyambako mu kaweefube
w'okufuna emmotoka zino omubadde okuyita mu Palamenti, kabineeti, minisitule
y'ebyensimbi n'ew'omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti.

Kyokka yakubirizza ababaka ba Gavumenti bano okukozesa emmotoka zino
mu mirimu gya gavumenti emitongole gyokka, era n'abakuutira okwongera okutuuka mu bantu nga bababuulira ebirungi Gavumenti ya NRM by'ekoledde eggwanga lino.

Yagambye nti akageri ke kiri nti era be bakulira obukiiko bwa corona mu Disitulikiti za Uganda zonna, bongere okukubiriza abantu okugondera amateeka ga Corona ng'okwambala masiki, okwewa amabanga n'okunaabanga mu ngalo kubanga Corona yeeyongedde ate atta.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts