PULEZIDENTI Donald Trump byonna by'abadde yeekwasa okulemera mu White House bimuweddeko kkooti ey'oku ntikko bw'egobye omusango gweyateekayo ng'awakanya obuwanguzi bwa Joe Biden mu ssaza ly'e Pennsylvania.
Essaza lino Trump yaliwangula mu 2016 kyokka omulundi guno ebintu byakyuse nnyo. Amasaza amalala agabaddeko enkalu Trump ge yali agamba nti yagawangula naye obululu bwe ne bubbibwa kuliko; Wisconsin, Michigan ne Georgia kyokka yonna bw'addukidde mu kkooti ebintu bimukyukidde.
Kati essuubi lisigadde mu lukiiko lwa Congress lw'alina okukozesa obutasukka January 6, 2021, lwe bagenda okutuula okukakasa obululu bwe baalangirira n'obuwanguzi bwa Biden. Trump ng'asisinkanye ababaka bano abeera alina okubamatiza okulaba nga bagaana okukakasa obuwanguzi bwa Biden kyokka bwe kimulema alina kutandika kusiba migugugye afulume White House.
Ttiimu ya Trump eyamunoonyeza akalulu olwategedde ebivudde mu kkooti e Pennsylvania, ne bafulumizaawo obubaka nti kati basigalidde kimu kumatiza Congress. Trump bw'abeera waakukozesa mukisa guno abeera alina okumatiza ababaka ne bagaana okukakasa obuwanguzi bwa Biden mu masaza agamu nga bwe bakikola ne bagaana okukakasa obululu bw'amasaza agaweza obw'essalira 270 libeera kkonde vvannyuma eri Biden.
Kyokka abakugu mu kusensula ebyobufuzi mu Amerika bagamba nti kizibu nnyo olukiiko luno okusazaamu ebyalangirirwa akakiiko k'ebyokulonda mu masaza ag'enjawulo. Abalamuzi ba kkooti ensukkulumu mwenda nga kuliko basatu Trump be yalonda baagobye omusango gwe kyokka tebannyonnyodde lwaki baagugobye.
Okuva Amerika lwe yakuba akalulu nga November 3, 2020 okutuusa kkooti we yasalidde omusango, Trump yagaana okukkiriza nti bamuwangudde bwatyo n'addukira mu kkooti ezze egoba emisango gye okutuusa ku guno ogusembyewo era ng'essuubi ly'okusigala mu White House liseebengeredde.
Egimu ku misango Trump yagiroopa ayita mu basajja be ng'omubaka Mike Kelly eyawaaba ogw'e Pennsylvania ng'agamba nti abantu okukuba akalulu ne bakaweereza gye babalira nga bakozesa email kimenya amateeka g'ebyokulonda mu Amerika.