ABANTU b'e Wakiso omuli omusumba n'abasuubuzi nabo beenyigidde mu kazannyo
k'okwewangulira ebirabo bya Ssekukkulu Bukedde by'ategese.
Bano baakulembeddwa pasita Chosen Chris Paulo, ow'ekkanisa ya Pure Power Proper Ministry e Wakiso- Kayunga, eyeebazizza Bukedde olw'okutegekeranga abawagizi be
era n'akubiriza abagoberezi be n'abalokole mu Uganda okwenyigira mu kazannyo kano nga naye bwe yakikoze.
"Bannange aba Bukedde mubeewo, Mukama abawe nnyo omukisa kubanga mutukoze bulungi,'' Pasita Chozen bwe yasabye.
Ono yeegattiddwaako abasuubuzi be twasanze mu maduuka gaabwe nga bajjuza Gabula abaakulembeddwa Shadia Namukisa eyagambye nti abaneebalama akazannyo kano beenenyanga bokka.
Yayongeddeko nti mu mbeera ya Corona gye babaddemu nga tebakola, bwe
bafuna omukisa nga guno bafube okulaba nga tegubayitako mwe muli ebya ssava bya Ssekukkulu era ye agamba nti waakujjuzanga akakonge kano buli lunaku okwongera
okutangaaza ku mikisa gye egy'okuwangula.
KY'OLINA OKUKOLA
Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku
1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge. Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera.
Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofi isi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire.
Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry Chrismas" nga luzannyiddwa. Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera
muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebya ssava.
Ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde.
Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa kkampuni ya UgaChick, Mary and Jesus Wines ne Mega Standard Supermaket.
Abantu abalala abalina omutima omugabi bakyasobola okwegatta ku Bukedde okwongera ku birabo ebinaagabibwa mu Gabula Ssekukkulu.
Thursday, December 3, 2020
'Gabula tabayitako mwemuli Ssekukkulu ensava'
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...
-
Hima Cement Limited has agreed to surrender back over 30 acres of land it irregularly acquired in Mwello parish in Mulanda sub-county in Tor...