Friday, December 18, 2020

Etteeka lya Kampala lizzeeyo mu Palamenti

Etteeka lya Kampala lizzeeyo mu Palamenti

ETEEKA lya Kampala eryakamala okukolebwamu ennongosereza ate kizuuse nti waliwo ebyalekebwa ebbali nti ligenda kuzzibwaayo mu Palamenti liddemu okutereezebwa. Kizuuliddwa nti ofiisi ya Sipiika Abubaker Kawala n'omumyuka we Bruhan Byaruhanga mu tteeka tewali kawaayiro kabalagira kusasulwa era n'omusaala gwabwe tewali agubagerekera.
Kino kitwaliramu ne ofiisi ya Sipiika n'omumyuka we ku magombolola ataano agakola Kampala.
Minisita wa Kampala Betty Amongi yawandiise ebbaluwa eyaweereddwaako Dayirekita wa Kampala Dorothy Kisaka, omumyuka we Ying. David Luyimbaazi, ofiisi ya Sipiika Abubaker Kawalya ne Loodi Mmeeya Erias Lukwago ng'abategeeza ekyasaliddwaawo nga November 30.
Baminisita baasazeewo nti tewali kawaayiro kalagira ku ngereka ya musaala gwa basipiika. Nti baasazeewo bazzeeyo etteeka mu Palamenti bayingizeemu akawaayiro akalagira ku nsasula ya Sipiika. Ebbaluwa yanokoddeyo n'akawaayiro nnamba 77 mu tteeka erikola ekiseera kino nga kawa minisita wa Kampala obuyinza okugereka omusaala gwa Loodi Mmeeya ne bakkansala.
Kuno yagasseeko emisaala gya baminisita mu ofiisi ya Loodi Mmeeya ne bammeeya ku maggombolola ssaako baminisita baabwe.
Yalaze nti okuggyako ng'etteeka lizzeeyo mu Palamenti, basipiika tebasobola kusasulwa okutuusa nga ennongosereza ziwedde.
Ebbaluwa yalaze nti olukiiko lwa baminisita olukubirizibwa Pulezidenti lwakkirizza bazzeeyo ennongosereza bongeremu engeri Sipiika gyateekwa okusasulwa.
Kino kinyiizizza basipiika ku disitulikiti ne ku magombolola okukolera ebbanga lino lyonna kyokka nga tebasasulwa.
Ensonga baziyingizzaamu ebyobufuzi ne bategeeza nti waliwo abaagala ssente za basipiika n'abamyuka baabwe baleme kuzikozesa mu kunoonya akalulu.
Ebbaluwa eraga nti baminisita ku lukiiko lwa Lukwago bo bateekwa kuweebwa ssako yaabwe era Betty Amongi yalagidde Dorothy Kisaka abasasule ensimbi buli omu 7,600,000/-, ate abatuula ku magombolola babasasule ssente 4,900,000/-. Basipiika bonna n'abamyuka baabwe, batuula ne batema empenda ku ngeri gye bateekeddwa okusasulwa naye nga tewali tteeka lyonna kwe beesigamye kubasasula ssente zino.
Basipiika bonna ku disitulikiti n'amagombolola babanja kumpi ensimbi ezisoba mu kawumbi.
Mu kiseera kye kimu ne Loodi Mmeeya Lukwago akyabanja ssente ze ezisoba mu bukadde 900 bwe yagobwa mu ofiisi okumala emyaka ebiri mu bukyamu.
Minisita Among era yawandiikidde Loodi Mmeeya nti bw'aba alina ky'ayongera mu tteeka lino akiweereze liddemu likyusibwe.
Etteeka erifuga Kampala lyazuzumbya nnyo aba KCCA ne Loodi Mmeeya nga liraga nti lyagala kumuggyako buyinza kyokka ekiseera kino limwongedde amaanyi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts