Friday, December 18, 2020

URA ereese enkola empya ku musolo

URA ereese enkola empya ku musolo

EKITONGOLE ky'ebyomusolo mu ggwanga kyanjudde enkola empya mwe bagenda okuyita okukuhhaanya omusomo mu bannannyini bizimbe n'abapangisa. Enkola empya erimu tekinologiya gwe bagenda okukozesa ng'agatta ebikwata ku muwi w'omusolo nga bwe yabiwandiisa mu bitongole bya Gavumenti eby'enjawulo.

Ab'ekitongole kya Uganda Revenue Authority (URA) baakuyunga ebiri mu minisitule y'ebyettaka ku biri mu KCCA, minisitule y'amazzi ne NIRA okulaba oba ddala omuntu oyo bye yawandisaayo bye bituufu ebimukwatako. Akulira URA, John Rujoki Musinguzi yategeezezza nti tekinologiya ono agenda kuyambako okumalawo obumulumulu obubaddewo mu kukuhhaanya omusolo.

Abantu abamu babadde bakyusakyusa ebibakwatako ne beepena omusolo. Kyokka Musinguzi yasabye bonna ababadde batambulira mu mbeera ey'okwebuzaabuza baveeyo mu kiseera kino boogere ebituufu ebibakwatako kubanga baasalawo okuwa ekisonyiwo etteeka nga bwe liragira ne bayimiriza ebibonerezo kyokka anaalemwa okukikola etteeka bwe linaamukwata ajja kubeera ng'alina okuweesebwa engassi.

Ayongerako nti enkola eno bw'enaatuukirizibwa, kijja kuyambako Gavumenti ya Uganda okukuhhaanya omusolo ogumala okuvaamu ssente ezisobola okutambuza emirimu gy'eggwanga lisobole okuwona okusabiriza. Enkola eya ‘Rental Tax Compliance' Musinguzi yagambye nti emu ku nkola za tekinologiya ow'enjawulo ze banjula mu kitongole kya URA okuziba amabanga abantu ge babadde bakozesa okwepena omusolo.

Enkola eno egenda kulaga ssente omuntu zaayingiza okuva mu bizimbe bye balaba era nga batagedde ani nnannyini kyo kubanga ebimu bibadde bibuzaabuza. Tekinologiya ono omupya bamukwasizza kkampuni ya RippleNami okukuhhaanya ebikwata ku bannannyini bizimbe n'abapangisa.

Kino wekijjidde nga URA egamba nti bangi babadde beepena omusolo nga buli kitongole osangayo ebikwata ku muntu oyo nga byawukana ne kibabuzaabuza ne balemwa okukuhhaanya omusolo gwe bateekeddwa okukuhhaanya.

Jaye Connolly-Labelle akulira kkampuni ya Ripplenami, Inc enkolagana ne RippleNami Uganda okutuukiriza enteekateeka ya tekinologiya ono yagambye nti nga bayita mu minisitule y'ebyensimbi basazeewo okukolagana ne Gavumenti ya Uganda okutuukiriza tekinologiya ono ow'omulembe okutereeza enteekateeka y'okukuhhaanya emisolo.

Jaye agambye nti beetegefu okukolera awamu ne gavumenti ya Uganda okukuuma ebikwata mu bawi b'omusolo nga bya kyama okuyita mu tteeka lya Data Protection and Privacy Act, 2019.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts