Friday, December 18, 2020

Eyalimbidde mu linnya lya Pulezidenti asibiddwa

Eyalimbidde mu linnya lya Pulezidenti asibiddwa

KKOOTI ya Buganda Road eriko omuyambi w'omuwandiisi wa Pulezidenti ow'ekyama gwesindise ku limanda mu kkomera e Kiggo. Ono bamugguddeko omusango gw'okulimbira mu linnya lya Pulezidenti bwe yali ku kakiiko k'eby'okulonda ng'asabira baganda be emirimu.

Carolina Kembabazi omukozi mu maka ga pulezidenti ‘aga State House' ng'avunaanyizibwa ku kulwanyisa obwavu mu Uganda yasindikiddwa mu kkomera.

Kitegeezeddwa nti wakati wa November ne December 2020, ku kakiiko k'eby'okulonda yalimba abakungu baayo nti pulezidenti amulagidde aleete Kenneth Magezi, Duncan Muramuzi ne Elia Abomeire baweebwe emirimu ng'abamyuka b'abawandiisi b'oku disitulikiti kyokka nga yali alimba.

Ono olumusomedde omusango n'agwegaana omulamuzi Gladys Kamasanyu n'amusindika ku limanda okutuusa nga January 6, 2021 lwanawulira okusaba kwe okw'okweyimirirwa. 

Kembabazi okumukwata yali agenze ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda okubayombesa lwaki baagaanyi okuwa abantu be emirimu ng'ate akolera ku biragiro bya pulezidenti.

Kigambibwa olw'okuba yali ava mu State House, abamu ku bakozi b'akakiiko abaali bakooye okubayombesa n'okubavuma baakubira aba State House essimu bajje bamukkakkanye kyokka nabo ensonga ne bazikwasa Afande Edith Nakalema akola ogw'okulwanyisa obuli bw'enguzi.

Abaserikale ba Nakalema batambulirawo paka ku kakiiko k'eby'okulonda we basanga Kembabazi ng'akyayomba ne bamukwata.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts