Saturday, January 30, 2021

Tebamatidde kibonerezo kyaweereddwa Uncle Money

Tebamatidde kibonerezo kyaweereddwa Uncle Money

ABENGANDA z'omugenzi Akim Siraje Tumusiime eyattibwa Jackson Ssewannyana ‘Uncle Money' tebamatidde na kibonerezo eky'emyaka ena egyamusibiddwa olw'okutta omuntu waabwe.

Ku Lwokuna kkooti ya Buganda Road yasingisizza Uncle Money eyali amyuka ssentebe wa Kasubi zzooni IV n'oweebyokwerinda Benson Ssennyonga omusango gw'okutta mu butanwa Tumusiime era bombi ne basibibwa emyaka ena naye ab'ehhanda z'omugenzi baagenze tebamatidde nga bagamba nti, kkooti ezannyidde mu musango gwabwe n'ekunakuna.

Abdallah Hakim Muleefu yagambye nti kkooti yasaze bulungi omusango kyokka bwe kyatuuuse ku kibonerezo ate n'ebattira ku liiso.

Yagambye nti engeri Uncle Money gye yattamu omuntu waabwe omuli okumusiba akandoya ne bamukuba emiggo ng'ate abamukuba bakulembeze ba kyalo, yabadde asaana ekibonerezo n'abalala kye banaalabirako ne batya okutwalira amateeka mu ngalo.

Yagambye nti okusinziira ku buvunaanyizibwa omugenzi bwe yalina, abaana be yaleka ne bye yali akola, Uncle Money ne munne baabadde basaana ekibonerezo kya kusibwa emyaka nga 30 oba mayisa naye okubasiba emyaka ena gyokka tebalina kye bagenda kuyiga.

Yagasseeko nti omugenzi baamuggya mu zzooni gye batavunaanyizibwako (Lubya zzooni) ne bamutwala mu yaabwe eya Kasubi zzooni IV gye baamukubira nga bwe baagala n'ekigendererwa eky'okumutta ekyamala ne kituukirira.

Oludda oluwaabi nalwo lwabadde lusabye Uncle Money ne munne basibwe emyaka 30 buli omu basobole okubeera ekyokulabirako naye omulamuzi Miriam Okello yagambye nti emyaka ena gibamala kubanga gwe mulundi gwabwe ogusoose okuzza omusango.Uncle Money w'asibiddwa nga wa myaka 56 ate Ssennyonga 28.

Omugenzi Tumusiime yali mutunzi wa masimu ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero mu Kampala era okumukuba baali bamuteebereza okubeera omubbi w'essimu.
Omugenzi baamulesa abaana bataano ng'abakulu balongo ba myaka 13 ne bannamwandu basatu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts