Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w'ekyalo kya Kabudindiri mu muluka gw'e Musa mu gombolola ye Kammengo mu Mpigi Yosam Nabbongo basabye Amelia okubayamba ku kabuyonjo ya lukale eyomulembe okwewala endwadde eziva ku bukyafu nokubafunira amazzi amayonjo.
Abatuuze balopedde Amelia bananyini ttaka abasusse okubaliisa akakanja nebamusaba abayambe ku mutaka eyabawadde nsalassale wa myezi ebiri okwamuka ekizinga ky'e Kabudindiri n'okubazimbira essomero eddala okukendeeza ku lugendo abaana baabwe lwe batindigga okugenda ku ssomero lye yabazimbira erya Buyiga P/S.
Abatuuze bamwetondedde ne bamusaba abasonyiwe olwobutamuwagira ekisanja ekiwedde era ne beeyama okumuwa obululu nga akabonero k'okumusiima olw'eddwaliro lye yabazimbira ku kizinga ekyongedde okutumbula ebyobulamu byabwe.
Abasuubizza okubawa obujjanjabi n'okugema abaana baabwe ku bwereere era nti waakukola enteekateeka z'okubazimbira kaabuyonjo ku buli kizinga n'abagumya nti waakusisinkana bannannyini ttaka okulaba nga tebasengulwa.
Ssentebe w'omuluka gw'e Musa Asuman Balikoowa asiimye Amelia olwenkulakulana naddala mu by'obulamu n'ebyenjigiriza n'asiima ne Pulezidenti Museveni olw'okukwata abajaasi ababadde basusse okutulugunya abavubi.
ABATUUZE n'abavubi ku bizinga bye Buyiga balajanidde Amelia abayambe okubazimbira kabuyonjo ya lukale bawone okweyamba mu nsiko.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe wekyalo kya Kabudindiri mu muluka gwe Musa mu gombolola ye Kammengo mu Mpigi Yosam Nabbongo basabye Amelia okubayamba ku kabuyonjo ya lukale eyomulembe okwewala endwadde eziva ku bukyafu nokubafunira amazzi amayonjo.
Abasuubizza okubawa obujanjabi nokugema abaana baabwe ku bwereere era nti wakukola entekateka z'okubazimbira kabuyonjo ku bulu kizinga nabagumya nti wakusisinkana bananyini ttaka okulaba nga tebasengulwa.
Ssentebe womuluka gwe Musa Asuman Balikoowa asiimye Amelia olwenkulakulana naddala mu byobulamu nebyenjigiriza nasiima ne pulezidenti Musveni olwokukwata abajaasi ababadde basusse okutulugunya amavubi.