Sunday, January 3, 2021

Lwaki abaserikale beefuulidde Zebra Ssenyange?

Lwaki abaserikale beefuulidde Zebra Ssenyange?

Ng'oggyeeko entegeka ze babaddemu okufuna ssente z'enteekateeka ya gavumenti ey'Emyooga, Ssenyange abadde amalirizza entegeka ezisisinkana Pulezidenti Museveni amuyitiremu pulaani gy'alina okunyweza ebyokwerinda mu Kampala mu kiseera ky'akalulu ng'akozesa ekibiina ky'abavubuka ba Team Bwaina.

Abantu nga bakung'anidde we baakubidde Zebra amasasi.

Kigambibwa nti abaabadde bamupangidde okusisinkana Pulezidenti baabadde bamubalidde ssente mpitirivu era okusobola okuzifuna ng'alina okulaga nti ebitongole by'ebyokwerinda babibbiramu ensimbi nyingi ezisabibwa boofiisa okunyweza ebyokwerinda ate ng'omulimu gwe bakola gusobola okutuukirizibwa Team Bwaina nti nga bagiwadde ssente ntono.

Kigambibwa nti mu kutegeka okusisinkana Pulezidenti, abakulu b'abadde akolagana nabo mu byokwerinda teyabategeezezzaako era kigambibwa nti amawulire baagafunye amaze kukeberwa Corona ng'abulayo nnaku mbale okusisinkana Pulezidenti.

Omu ku baana, omukubi w'ebikonde eyayita mu mikono gya Zebra.

Kiteeberezebwa nti okumukuba okumutta, abaserikale baakikoze mu bugenderevu nga kiteeberezebwa nti bye yabadde agenda okutegeeza Pulezidenti birina abakulu abamu be byabadde biteeka mu buzibu.

Mu bantu abazze battibwa nga bategeka okusisinkana Pulezidenti kuliko Ibrahim Abiriga ne Joan Kagezi ate Mohammed Kirumira ye baamutta amaze okusisinkana Pulezidenti era ng'ategeka lipoota gye yali alina okuzzaayo ewa Pulezidenti kw'ebyo bye yali amubuulidde.

Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga ku Lwokuna ekiro, yagambye nti, ‘Mbadde simanyi Zebra naye nawulidde yabadde ayagala kundaba ng'amaze n'okukeberebwa Corona.'

BAYINGIZZAAMU EBIBINJA BY'ABAKUBI B'EBIKONDE:                                                                                         Kyokka ate abamu, basonga mu bubinja bw'abakubi b'ebikonde obutakwatagana mu Kawempe. Abakubi b'ebikonde abasinga, basibuka Kawempe era eno, gye baateeka enkambi zaabwe nga kumpi buli mukubi wa bikonde alina akabinja k'akulira.

Waliwo akabinja akakulirwa Kabaya nga kano, tekakolagana na kakulirwa munne eyeeyita Genero Guguno ng'amanya ge amatuufu ye Sowedi Swaleh. Obubinja bwombi buli kamu kalumiriza kannaako okubeera nga be babba mu Kawempe ne batandika okuwa poliisi amawulire ku buli kabinja ssaako okulwanagana nga basisinkanye.

Genero Guguno nti abadde akwatagana nnyo ne Ssenyange era, kigambibwa nti, Ssenyange ye yatendeka Guguno ebikonde. Kawempe alimu obubinja obulala obw'abakubi b'ebikonde okuli aka T. Bag, Kabugo, Kooki Drago mutabani w'omugenzi Col. Drago n'obulala bungi.

Amawulire obubinja buno ge buwa poliisi olumu gabeeramu okuwaayiriza era kiteeberezebwa nti osanga balina bye baategeezezza abeebyokwerinda nga bawaayiriza Ssenyange mu ngeri eyatiisizza abeebyokwerinda ne basalawo okumutta nga tebamuwadde mukisa gwonna gwa kwerwanako.

Kyokka ensonda mu byokwerinda e Kawempe zaategeezezza nti, enkola y'obubinja buno okuva ku nkomerero y'omwaka oguwedde ebadde ekyuse nnyo nga kati tebakyabba nga bwe baali bamanyiddwa, wabula obubinja obusinga bubadde buyingidde ebyobufuzi era bammemba baabwo abamu nga n'okwesimbawo beesimbyewo ku Bwakansala ate abalala nga bakola bwa kanyama bw'abeesimbyewo ekyongedde obukuubagano wakati mu bubinja obwo.

Ensonga z'ebyobufuzi zijjulirizibwa abaabaddewo nga Zebra Ssenyange attibwa abaategeezezza nti abasajja olwamulabye ne bakubirawo amasasi nti era n'afukamira nga bw'abagamba nti: Temunzita, ssirina musango; ndi wa NRM.

Kigambibwa nti Zebra Ssenyange abadde mweraliikirivu era mu nnaku ze ezisembyeyo abadde atera okudda awaka nga bukyali nga kiteeberezebwa nti abadde yeekengera abeebyokwerinda abaabadde bamwefuulidde nga bamuli bukiika.

Nnamwandu Mercy Mukankusi yagambye nti bba bwe yawulidde enswagiro ebweru n'ayita emmanju n'abuuka ekikomera kya muliranwa era gye baamuttidde wabula n'asambajja ebigambibwa nti yagezezzaako okulwanyisa abaserikale.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts