ABATUUZE b'e Kiwologoma e Kigoogwa B mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiira mu nnyumba kati ennaku ssatu.
Peter Mwanje 70 muganda wa ssentebe w'ekyalo kino, Steven Muwanga Mbuga abadde yakasenga ku kyalo kino emyezi ebiri emabega ye yasangiddwa nga yafiira mu nnyumba. Okukitegeera baasoose kuwulira kivvundu ku nnyumba eno era baagenze okumenya oluggi nga munnaabwe ye yafiiramu.
Omuwandiisi w'ekyalo kino, Francis Ndawula Kato ategeezezza nga nnannyini nnyumba zino John Ssali ye yagenze mu boobuyinza nga yeemulugunya ku kivvundu ekibadde mu nnyumba ekibawalirizza okugimenya.
Asabye abantu naddala abakuliridde mu myaka okwewala okusula bokka mu mayumba.