Sarah Namwanje yafiiridde mu kkanisa ya Prayer Pays Health Center Nansana ng'eno esumbibwa Paasita Juliet Babirye Kisakyamukama mu kiro ekikeesezza olwaleero ku Lwomukaaga.
Poliisi okuva ku Yesu Amala ezze n'eyaza ekkanisa ng'eno esanzeeyo abalwadde n'abaana abasoba mu mu 20 nga bonna basula mu kkanisa eno wabula nga abamu tebaliiko na bazadde baabwe era bagezezzaako okubuuza omusumba ono lwaki akuumira wano abantu n'ategeeza nti Mukama y'awonya.
Ainembambazi Christine omu ku baana b'omugenzi ategeezezza nga nywabwe bw'abadde n'obulwadde bwa mukenenya nga buno bwe bumuviriddeko okufa era n'agamba nti we wabaawo omuntu w'okunenya banenye Katonda amututte so si omusumba.
Abatuuze bavumiridde ekikolwa ky'abagoberezi okuwakanya okugendanga mu ddwaliro ne badda mu kkanisa balinde Mukama okubawonya era ne bategeeza nti ekkanisa eno tekkiriza mugoberezi kugenda mu ddwaliro wabula basaba Katonda olwo ne balinda okubawonya.
Ssentebe w'ekitundu kino Fred Kabanda avumiridde ekikolwa ky'abasumba okukuumira abantu mu kkanisa nga balwadde ate ne babaleetera obuzibu nga bafiiriddemu.