ABATUUZE ku luguudo lwe Ntebe okuli Katabi, Bayitaababiri ne Kitubulu beeraliikirivu olwa kasasiro gwe bagamba nti asaasaana buli wamu omuli ne ku nguudo ekiswaza oluuudo lwabwe.
Bano nga bakulembeddwa Loius Kayanja bagamba nti kasasiro atuuka n'abayitirirako ne basalawo okumusomba nga bamuyiwa ku luguudo kyokka n'amalako omwezi nga tanonebwa.
Baalaze okutya nti ayinza okubaleetera endwadde.
Abalala bagamba nti bamuleka awaka kyokka batuuka ekiseera nga mungi n'avunda ekyongera okuleeta obucaafu ate nga balina abaana abato. Baasabye gavumenti okubajjukira baddemu okusomba kasasiro kubanga batuuse n'okumuteeka mu bifo we batundira ebyokulya.
Meeya w'e Katabi, Ronald Kalema yategeezezza nti bamaze emyezi ena nga tebafuna nsimbi noolwekyo talina ky'ayinza kukola ku kusomba kasasiro.