POLIISI ezudde omulambo gwa ddereeva omunakenya eyabadde avuga lukululana eyagudde ku kabenje oluvanyuma n'ebengeya yonna.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Busoga East James Mubi, Poliisi yazudde omulambo gwa Ibrahim Abedi Yare oluvannyuma lw'okusikayo ebipapajo bya lukululana eyagwa mu mwala ku kyalo ky'e Wandago mu disitulikiti y'e Mayuge.
Mubi yategeezeza Bukedde ku Mmande nti akabenje kano kaaliwo ku lusooka omwaka, lukululana y'amafuta nnamba KAN 825D/ZD 9796 bwe yatomeragana ne mmotoka ya buyonjo nnamba UAB 851Y era bw'etyo n'rlemelerwa omugoba waayo n'egwa mu luwonko n'ekwata omuliro yonna n'egya n'esaanawo.
Mu kusooka olugambo lwayitang'anye nti ddereeva yabuuseemu wabula Poliisi bwe yabadde egyawo lukululana n'egwa omulambo gwa ddereeva Yare nga nagwo gwayidde byansusso ne baguggyawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Iganga.
Wabula Poliisi ekola ku nguudo yasiitaanye okusikayo lukululana mu luwonko gye yagwa era baaleese Crane okugiggyayo.