Saturday, January 2, 2021

Alumirizza bba okumukuba olutatadde lwa butawagira NUP

Alumirizza bba okumukuba olutatadde lwa butawagira NUP

Bya Rosemary Nakaliri

Omukazi alumirizza bba okumukubanga olutatadde ng'amulanga butawagira kibiina ye ky'awagira.

Nalunga Sarah omutuuze w'e Nansana mu West Zooni asangiddwa mu ddwaliro lya GMK nga apooca n'ebiwundu  alumiriza bba Ssentengo Frank okumukakanangako namukuba nga amulanga butawagira kibiina Kya NUP.Abafumbo bano bamaze emyaka 25 nga bali bonna balina abaana 3.

Okufuna obutakkaanya kyava ku kuwagira NUP kyokka ate nga omukyala wa NRM lukulwe ekyaviirako omwami okulagira omukyala alondeko eby'obufuzi oba obufumbo kyoka kino Nalunga ye n'akiwakanya ng'agamba buli muntu alina eddembe okuwagira omuntu gw'ayagala era gw'awulira ku mutima.

Abamu ku bakulembeze mu kitundu kino okuli Samuel Mugabi bavumiridde ekikolwa kya Ssentongo.

Mugabi agamba nti okukuba mukyala embooko olw'okuba mwawukana mu byobufuzi kikyamu n'agamba ekkula ly'obufumbo toyinza kuligeraageranya ku byabufuzi kuba byo byakaseera buseera ate obufumbo bwa lubeerera.

Tugezezaako okunoonya Ssentengo ku ssimu ye kyokka n'atatujjuliza muwala we ow'emyaka 10 gwetuba tubuuza atubulire ekyabatabudde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts