Friday, January 8, 2021

Asikaali eyatta dokita wa IHK asibiddwa emyaka 20

Asikaali eyatta dokita wa IHK asibiddwa emyaka 20

ASIKAALI eyatta dokita Catherine Agaba ow'eddwaaliro lya IHK e Namuwongo omulambo gwe n'agusuula mu kinnya kya kazambi asingisiddwa omusango gw'obutemu kkooti n'emusiba emyaka 20.

Ronald Ken Obangakene 24, yali mukuumi w'obwannannyini ku mayumba g'obupangisa aga GPS Apartments e Muyenga Bukasa omugenzi kwe yali apangisa.

Olwamusimbye mu kkooti enkulu teyatawaanye kumalira mulamuzi budde, yakkiriza emisango ebiri okuli ogw'obutemu n'ogw'okubba omugenzi nga yeeyambisa ekissi era omulamuzi, Anthony Ojoko n'amuwa ekibonerezo kya kumala emyaka 20 mu kkomera mu nkola emanyiddwa nga ‘plea bargain' omusibe mw'akkiririza omusango ne bamuwa ekibonerezo ekisaamusaamu.

Ettemu lino lyaliwo nga April 12, 2019 era okuviira ddala ku mulundi gwe ogwasooka okutwalibwa mu kkooti ento e Makindye mu 2019 okutegeezebwa emisango egimuvunaanibwa, Obangakene eky'okutta dokita abadde takirumamu.

Entabwe yava ku dokita kulaalika Obangakene nga bwe yali agenda okumuloopa mu bakama be olw'enkola ye embi ku mulimu gwe.

Buli Agaba bwe yakomangawo okuva ku mulimu, Obangakene teyabeerangawo ku ggeeti okumuggulira ekintu ekyamunyiizanga ennyo era n'amulaalika okumuloopa sso nga Obangakene eky'obutaggulawo geeti yali akikozesanga kakodyo kufuna mukisa dokita kumukubirako ku ssimu asobole okufuna engeri gy'amutandikamu okumukwana.

Obangakene yalaba by'abala tebiyitamu kwe kumufunza n'amutuga n'akola eby'ensonyi ku mulambo gwe okumwesasuza omulambo gwe n'agusuula mu kinnya kya kazambi.

                  Catherine Agaba Eyattibwa.

Okutegeera nti Agaba abuze mwannyina yasooka kugenda wuwe nga April 13, 2019 nga taliiyo n'amukubira n'essimu nga teziriiko n'amunoonyezaako ne ku mulimu gwe ng'amayitire ge tegamanyiddwa kwe kuggulawo omusango ku poliisi y'e Kabalagala eyatandika okunoonyereza naye nga byonna bye baazuula omuli amasimu agazze gakubirwa omugenzi bisonga ku Obangakene.

Obangakene yadduka ne yeekweka mu disitulikiti ya Oyam ng'abajaasi ba CMI ne poliisi gye bamukukunula nga bamukettera ku ssimu y'omugenzi Agaba gye yamubbako ate n'atandika okugikozesa.

Obangakene mu kkooti olwamaze okukkiriza omusango n'agamba omulamuzi nti mu kiseera we yaddiza omusango yali akyali mu myaka gy'ekito 17 nga by'akola tasooka kubifumiitirizaako kyokka oludda oluwaabi lwaggyeeyo ebbaluwa y'omusawo ng'eraga nti mu 2019 yali wa myaka 24.

Eky'emyaka omulamuzi Ojoko teyakifuddeko nnyo n'agamba nti ne bwe yandibadde wa 16 tekiggyaawo musango nti yatta omuntu atalina musango eyandibadde ayamba okujjanjaba abalwadde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts