Friday, January 8, 2021

Teri kutabula mirembe - Museveni

Teri kutabula mirembe - Museveni

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okujjumbira okulonda nga January 14 n'abakakasa nti tewagenda kubaawo muntu yenna ajja kukkirizibwa kutabangula mirembe mu ggwanga.

"Temutya mugende mulonde, tetugenda kukkiriza muntu yenna kutabula Uganda k'abeere ani".

Yawadde Bannayuganda amagezi beekubire enduulu eri poliisi oba eri abakulembeze baabwe ssinga wabeerawo omuntu yenna abatiisatiisa.

"Abalonzi muboogereze bulungi, mubabuulire ne bye mugenda okubakolera so si kubakangakanga".

Pulezidenti okwogera bino yabadde mu disitulikiti y'e Mityana ku Lwokusatu gye yayaniriziddwa mu bbugumu mu kkampeyini ze ez'obwapulezidenti.

Ono era yalabudde ab'empisa ensiiwuufu mu poliisi n'ategeeza nga bwe bongedde okuteekawo kkamera enkessi ezigenda okuyambako okulondoola abaserikale bano.

Yakkaatirizza nti ku mulundi guno okusinga essira baakuliteeka ku byetaago by'abantu wabula n'asaba Bannayuganda okumukolera ebintu 4 byokka omuli okuwagira NRM, okulwanyisa obwavu, okwewala siriimu n'okwewala okunywa omwenge.

Pulezidenti Museveni Nga Yaakatongoza Eddwaaliro Ly'e Mityana.

PULEZIDENTI BY'ASUUBIZZA AB'E MITIYANA
l. Asuubizza okubakolera oluguudo okuli olw'e Myanzi - Kassanda okutuuka e Kiboga.

2. Okubakolera oluguudo lw'e Mityana okutuuka e Gomba.

Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yaloopedde Pulezidenti nga mu disitulikiti y'e Mityana bwe mwayingiramu kawuukuumi w'abantu abawagira abakulembeze ng'omubaka Francis Zaake abatalina nnyo bya makulu bye bakolede bantu okugyako okukola effujjo ne katemba mu palamenti.

Omukwanaganya w'abavubuka mu Greater Mubende, Abdul Bisaso yeebazizza Pulezidenti olw'okukomawo mu disitulikiti y'e Mityana okunoonya akalulu n'ategeeza nti kya kuyamba kinene NRM okwongera okusiguukulula ab'oludda oluvuganya ababadde bamaamidde ennyo ebifo ebisinga obungi e Mityana.

Ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana, Joseph Luzige yasiimye pulezidenti olw'enkulaakulana mu disitulikiti eno omuli, amazzi amayonjo ageeyongedde okusaasanyizibwa mu bantu nga kati ebitundu 82 ku 100 balina amazzi.

3. Ebitundu 78 ku 100 birina amasannyalaze n'amasomero ga bonna basome ageeyongedde.

EBIKYASOMOOZA AB'E MITYANA
i Basabye Pulezidenti okubayTeri kutabula mirembe - Museveni
ambako okubakolera emigga 3 okuli ogwa Kitenga, Sululu ne Bugabo ng'emigga gino gyonna gyawaguza ne gyonoona amakubo era nga gyetaaga ssente nnyingi okugikola.

ii Beetaaga ebyuma bya X-ray mu ddwaaliro lya gavumenti ery'e Mityana n'eddagala erimala abalwadde.

iii Basabye okwongera okubatereereza amasannyalaze ge bagambye nti gavaako nnyo ne kireetera n'ebyuma mu malwaliro okwonooneka.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts