Friday, January 8, 2021

Engeri Trump gye yakunze abawagizi be ne bakola effujjo ku palamenti

Engeri Trump gye yakunze abawagizi be ne  bakola effujjo ku palamenti

EKIZIMBE kya Palamenti ya Amerika kyafuuse ng'eddwaaniro ng'amagye ne poliisi bafaafaagana n'abawagizi ba Pulezidenti Trump abaabadde bakola effujjo okukkakkana ng'abeekalakaasi 5 battiddwa.

Effujjo lino lyaddiridde, Pulezidenti Trump okukunga ebikumi n'ebikumi by'abawagizi okuva mu masaza gonna 50 nga basoose kukuηηaanira mu kibangirizi ekitunudde mu maka g'Obwapulezidenti aga White House agasangibwa 1600 Pennsylvania Avenue mu kibuga Washington, D.C n'abafalaasira.

Awo we baavudde mu bungi ne batambuza bigere wakati mu ffujjo eritalojjeka ne batuuka ku kitebe kya palamenti ekyesudde
mayiro 2 okuva White House ne beekola ekigenyi ng'ababaka aba Palamenti badduse mu ofiisi.

Abawagizi Ba Trump Ku Palamenti.

Olwo Palamenti ya Amerika ey'awamu eyitibwa ‘Congress', etuulamu ababaka aba Palamenti ebbiri; Senate, ey'ababaka 100 ne House of Representatives etuulamu ababaka 435 baabadde mu lutuula okukakasa obuwanguzi bwa Joe Biden 78 nga Pulezidenti wa Amerika owa 46, ekintu Trump kyawakanya ng'agamba nti Biden yabba obululu.

Ababaka abaabadde bateredde mu ntebe n'omumyuka wa Pulezidenti, Mike Pence beekanze abeekalakaasi besozze ekizimbe kya Capitol Hill mwe baabadde battaanyiza obuwanguzi bwa Biden ekyabawalirizza okubuna emiwabo.

Abamu baabatutte bazirise olw'ekyafaayo kye batalabangako ku demokulasiya w'ensi yaabwe amaze emyaka 230 bukyanga ssemateeka waabwe akolebwa nga tewali Pulezidenti yali ayungudde bawagizi be kulumba Palamenti nga Trump bwe yakoze ku Lwokusatu.

Ofiisi z'ababaka naddala ab'ekibiina kya ba Democrats naddala eya Sipiika wa Palamenti eya Hosue of Representative, Nancy Pelosi 80 , abeekalakaasi bagyesozze kyokka nga yabadde yeemuludde era waliwo omwekalaasi eyakwatidda ku katambi ng'atudde mu ntebe ye ng'amagulu awanise afuuwa ka ssigala.

Ensi yonna yeewuunyizza Trump bw'atuusizza Amerika ku byafaayo ebitera okubeera mu Afrika ate abalala nga beewuunya engeri abeekalakaasi bwe baatuuse mu ofiisi ez'amaanyi.

  Abavubuka Abaabadde  Bambadde Ng'ensolo Abaalumbye Palamenti.

Abaserikale Nga Bazze Okutaasa Embeera.

Ebizimbe bingi mu Amerika omuli n'ekya Palamenti biriko akakomera kampi nga n'omwama asobola okukabuuka ate abeekalakaasi tebatera kubakolako na maanyi gasusse nga bwe kitera okubeera mu Afrika y'ensonga lwaki baatuuse gye batalina
kutuuka.

Nga bitabuse, muwala wa Trump era omuwabuzi we, Ivanka Trump yatadde obubaka
ku mukutu gwe ogwa Twitter ng'asaba kitaawe n'abeekalakaasi abaabadde mu nkumi n'enkumi ku luguudo lwa Pennsylvania Avenue olugatta amaka ga Pulezidenti aga White House ne Palamenti era nga ky'ekifo Biden w'agenda okulayirira babiveeko
badde ewaabwe nga buteerere.

Omu Ku Baalumbye Palamenti Eyakwatiddwa Nga Bamusiba Empingu.

Ivanka okukola ekyo, Abamerika bangi omwabadde n'abawagizi b'ekibiina kya Republican bennyini ekiwagira Trump baabadde bavumirira ekikolwa ekyatyobodde eggwanga lyabwe eryetwala ng'ekyokulabirako mu bya demokulasiya.

Trump yeevuddemu naye n'assa obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter nga naye asaba abeekalakaasi bakkakkane kyokka nga naye tebakyamuwuliriza kubanga yabadde asoose okubakumamu omuliro nti bagenda bataase Amerika.

Olw'obubaka bwe obusasamaza bwe yatadde mu Twitter, abaddukanya omukutu ogwo wamu n'omukutu ogwa Faceebook ne Instagram baaweze Trump obutaddamu okuyisaako bubaka okumala essaawa 12.

Meeya w'ekibuga Washington, D.C. Muriel E. Bowser ng'akolagana ne Gavana w'essaza eryo, baayise amagye ga Amerika aga National Guard okukkakkanya obwegugungo abeekalakaasi abamu ne bakwatibwa n'abalala 4 ne balusuulamu akabaka.

Kafiyu eyaliwo ku ntandikwa ya COVID-19 yayongeddwaako kati okuwera ssaawa emu ey'akawungeezi omuntu takyakkirizibwa kumala gatambula mu kibuga Washington.

Okutuusa nga January 20, 2021 Biden lw'anaalayira tebagenda kukkiriza bantu mu bukuukuulu okutangira okwekalakaasa okuyinza okubaawo ku lunaku olwo.

Mu birala, abantu tebalina kumala gakuhhaana awatali nsonga mu Washington naddala
ku luguudo lwa Pennsylvania Avenue,Capitol Hill ne White House.

Mike Pence ( Ku Kkono) Ne Sipiika Nancy Pelos.

Okuva okulonda Pulezidenti wa Amerika lwe kwaliwo nga November 3, 2020 Biden n'awangula, Trump yagaanira ddala okukkiriza ebyavaamu ng'ekyokuduumira abeekalakaasi okulumba Palamenti kye yabadde alowooza okumutaasa.

Trump yabadde alowooza nti abekalakaasi basobola okuwamba ababaka okumala ebbanga oba ennaku eziwera ne bakakibwa okukyusa ebyava mu kulonda ye kw'agamba nti baamubba olwo balangirira ye (Trump) oba basalewo nti okulonda kulina okuddibwamu.

Ng'amagye gakkakkanyizza abeekalakaasi, ababaka bazzeemu okuteesa era Biden n'akakasibwa nga gwe mutendera ogusemba okusinziira ku ssemateeka wa Amerika okukakasa Pulezidenti omulonde era kati ka gwake k'etonnye ne bwe gunabeera omuzira omungi, Biden alinze kulayira.

Aba gavumenti ya Trump batandise okulekulira. Abakungu basatu abakola mu White House okuli Stephanie Grisham abadde omuyambi wa Melania Trump mukyala wa Trump balekulidde.

Abalala kuliko omuwandiisi w'ebyembeera z'abantu, Rickie Niceta n'omumyuka w'omuwandisi w'amaka ga White House, Sarah Matthews nga bagamba nti ekyabaddewo kyabakanze tebayinza kuswazibwa.

Bano betegudde ekibabu ekisuubirwa singa Trump n'abantu be banaagaana okuva mu maka ago nga January 20 .

Ababaka basemba Trump aggyibweko kati, olw'effujjo lye batalabangako eryalabisizza Amerika ng'enjogera bw'eri, ab'ekibiina kya Republican ekikulemberwa Trump yennyini baasabye omumyuka wa Pulezidenti Pence atuuze kabinenti baggyeko Trump nga beesigama mu konsitityusoni ya Amerika kubanga obuyinza babulina.

Konsitityusoni eragira nti Pulezidenti aba afunye obuzibu okuli n'omutwe ogutakola bulungi, omumyuka we ne baminisita basobola okumuggyako okutaasa obuzibu bw'ayinza okusuula ku ggwanga lye. Bano bagamba nti Trump alabika alina ekimuwujja.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts