JOSEPH Sekyewa 24 eyali omuvuzi wa boda e Kabuusu alaajanidde abazirakisa okumuyamba bamusondere ssente obukadde 11 asobole okulongoosebwa omutwe gwe baakuba ennyondo amagumba ne gaabika ne bamubbako ppikippiki ye.
Sekyewa agamba nti obuzibu buno yabufuna nga June 25, 2018, kojja we Tonny Kakooza bwe yamukubira essimu ng'ayagala amwazike bodaboda ye UEF 741K nga baali baakusisinkana e Busaabala ku ssaawa 9:00 ez'ekiro.
Bwe yatuukayo yamusanga n'abantu abalala babiri be yali amanyi (Kharim Kafuuma ne Hamza) ne bamulagira ave ku ppikippiki.
Yalemerako ne balwana awo Kafuuma we yamukubira ennyondo ku mutwe ate Kakooza n'amuluma engalo, Hamza n'amufumita ekiso ku mutwe ne ku kutu. Agamba yaddamu okutegeera ng'ali mu ddwaaliro e Mulago.
Bwe baamusiibula yaggulawo omusango ku poliisi y'e Katwe era Kakooza ne Kafuuma baakwatibwa nga bali mu kkomera e Luzira.
Wabula Sekyewa agamba nti ayita mu bulumi. Baamulongoosa amagumba agamu ne bagaggyamu omutwe ne gujjamu ekinnya. Agamba yeetaaga obukadde 11 baddemu bamulongoose. Alina obuyambi abuyise ku 0702514008.
Friday, January 8, 2021
Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo asaba buyambi
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...